Amawulire

Uganda efunye kkampuni z'ennyonyi endala bbiri okusaabaza bannayuganda okuva ku kisaawe e Ntebe

KAMPUNI z'ennyonyi endala bbiri zeegase ku kampuni endala ezikolera ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe nga zino nazo zakutandika okusaabaza abantu okugenda mu mawanga agenjawuulo , Enyonyi zino kuliko Malawi Airlines wamu ne Safari Airlines era nga omukolo guno gubadde ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe .   

Fred Bamwesigye akulira ekisaawe ky'ennyonyi e Ntebe
By: Godfrey Ssempijja, Journalists @New Vision

KAMPUNI z'ennyonyi endala bbiri zeegase ku kampuni endala ezikolera ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe nga zino nazo zakutandika okusaabaza abantu okugenda mu mawanga agenjawuulo , Enyonyi zino kuliko Malawi Airlines wamu ne Safari Airlines era nga omukolo guno gubadde ku kisawe kye nnyonyi e Ntebe .

Akulira enyonyi ya Safaris Airlines Alex Avedi agambye nti kino kyebakoze okwegata ku Uganda kirungi nnyo kubanga kyakuyamba okutambuza abantu mu bwangu okuva mu Uganda okutuuka e Kisumu kwosa n'okutumbula eby'obulambuzi .

 Ono agamb ye nti bagenze okukizuula nga Uganda yensi mwebayinza okukolera obulungi awatali kuatataganyizibwa ate nga entambula ye nnyonyi mu Uganda eyongede okukula  ne byobulambuzi byongedde okutumbulwa . 

 Akulira enyonyi ya Malawi Airlines Solomon Bekele Debay agambye nti bakusabaza abantu okuva mu Uganda okutuuka mu ggwanga lye Malawi emirundi 4 mu wiiki  era n'asaba abasabaze okugyetanira.

Ate ye Akulira ekisawe kye nnyonyi e Ntebe Fred Bamwesigye agambye nti kino kyebakoze okuleeta enyonyi zino zombie okuva e Kenya ne Malawi kirungi nnyo era nti kyakwongera okutumbula eby'obulambuzi mu Ugada nga abantu batambula bulungi awatali kusomoozebwa  naye nasaba kampuni endala okwegata ku Uganda mukutambuza abantu mu banga nga baleeta enyonyi ez'omulembe .

Tags: