Bya Daphine Semakula
George Lukaanya, omuyizi eyasinze ku ssomero lya Seeta High School- Mbalala afunye obubonero 20.
Lukaanya yakoze bw'ati: GEP- 3, MTC- A, PHY- A, CHE A, CST- A.
Agamba nti ekimuyambye okukola obulungi kwe kuba ng'abadde asomesa banne ne kimwongera okuyiga.
Ono mu P.7 gye yatuulira ku Mugwanya Preparatory School yafuna obubonero 7, ate mu S.4 obubonero e Seeta High School Mbalala n'afuna 11, nga kati afunye 20.
Lukaanya agamba nti ayagala kusoma bwa yinginiya wa kompyuta (Soft ware Engineering) mu yunivaasite y'e Makerere.
Lukaanya yeebaza nnyo Katonda amusobozesa okuba omuyizi asinze mu masomo ga ssaayansi mu ssomero lye.
Yeebaza bazadde be abamuweeredde n'okumuzaamu amaanyi n'abasomesa be aba Seeta High School okuli; Mr. Tumwiine Joshua, Mafaabi Micah, Isaac Balayo,Thembo Jodra, Kiddu Douglas n'emikwano gye gy'abadde asoma nagyo essomo lino okuli; Rwothomio Aaron, Ssenoga George, Mujuni Emma,Wandera Jonathan, Ngolobe Patrick n’abalala