Amawulire

Tunoonye Katonda okukira bye tumufunamu

MUBEERE ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa… Muleke kulamula, lwe mutaliramulwa. Muleke kusalira bannammwe misango, nammwe lwe mutalisalirwa misango” (Luka 6:36-42).

Msgr.John Wynand Katende
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

MUBEERE ba kisa nga Kitammwe bw’ali ow’ekisa… Muleke kulamula, lwe mutaliramulwa. Muleke kusalira bannammwe misango, nammwe lwe mutalisalirwa misango” (Luka 6:36-42).
Ndowooza buli omu amanyi olugero lw’omwana omusaasaanya, olusangibwa mu Bibuliya. Tutera okulukozesa ku muntu akomyewo awaka, oluvannyuma lw’ebbanga eggwanvu. Lukwatagana bulungi n’Ekisiibo; nga Katonda atuyita okudda gy’ali. Naye nno abatulambika mu ddiini batugamba nti olugero olwo lukwata ku muzadde omusaasaanya oba ow’ekisa, okusinga ku mwana eyadda awaka.
Katonda yeeyoleka gye tuli mu bujjuvu, ng’ayita mu Mwana we Yezu Kristu. Era mu ye mw’ayagala naffe tuyite okukolagana naye, wamu ne bantu bannaffe, mu bujjuvu. Kino kyennyini Yezu ky’ategeeza mu ngero essatu: endiga eyabula, nnyiniyo n’agizuula, ensimbi eyabula nnyiniyo n’agizuula, n’omwana eyabula, kitaawe n’amuzuula (Luka 15). Mu ngero ezo, Yezu atukunga tukungirize obulungi bwa Katonda, okwagala kwe n’obusaasizi bwe. Nga Katonda bw’atakyuka n’embeera ze tezikyuka. Akyawa ekibi n’ayagala omwonoonyi. Katonda ayagala tumanye bw’atwagala era bw’atunoonya nga tumuvuddeko.
Wadde nga Katonda yawa Adam ne Eva omukisa ogw’okwenenya tebaagukozesa, teyaterebuka; yatusindikira Omwana we atulokole. Yezu kye yava yeeyanjula nga bwe yajja okunoonya endiga eyabula, olwo ng’ategeeza ffe aboonoonnyi, tuleme okuzikirira (Luka 19:10).
Bwe twetegereza engero essatu ezoogerwako, Yezu asinga kuzoolekeza bannaddiini abaali bamuvunaana okwetaba n’abonoonyi n’okulya n’alya nabo! Abaatulira nti ate nno bo be baali basinga obwonoonyi, kuba wadde baali beetenda okuweereza Katonda, naye ate baali tebamumanyi era nga ssi gwe baliko. Baali nga omwana oli omukulu, eyali yeetenda okuweereza kitaawe naye nga tamanyi mutima gwe, era nga ssi gw’aliko. Kye yava avunaana kitaawe okwaniriza muto we, gwe yalowooza nti yali takyalina mugabo waka. Kitaawe kye yava afuluma, n’amukomako, amusseemu omutima ogugwe.
Eky’amazima ffenna tuli boonoonyi abeetaaga Katonda atugirire ekisa kye ng’ayita mu Mulokozi, gwe yatusindikira. Naye nno Agustino Omutuukrivu agamba nti Katonda yatutonda nga situliiwo, naye tajja kutulokola nga twesuuliddeyo gwa nnaggamba. Tulindiriddwa okwenenya, lwa kwagala, ssi lwa buwaze oba lwa kutya omuliro. Obutafaanana ng’omwana eyasalawo okudda eka, aleme kufa njala, Katonda ayagala tunoonye ye kennyini, okukira ebyo bye tumufunamu.

Tags: