ABAAYISIZZA ekiteeso okuggula emisango ku Donald Trump abatemye akakule n’agamba nti ekyo kimwongera maanyi kubanga ategedde nti bamulwanyisa lwa byabufuzi tebalina musango gwa kumuvunaana.
Yagambye nti abamulwanyisa beerabidde ekintu kimu ntu buli lwe bamuyigganya abaagala emirembe beeyongera okumuwagira kubanga ali ku nsonga z’abantu.
Trump yatuuse n’okubagerera engero nti, ekitatta muyima tekimumalaako nte ze kubanga buli lw’alaba nga bamuyigganya amaanyi gamweyongera n’amanya nti kasukaali ke yabatabulira kanoze.
Omukutu gwa twitter kwe yasinziiranga okuwandula ebigambo, baamugobako n’atandika omukutu ogugwe ogwa Truth Social kati kw’asinziira n’abuukula.
Palamenti ya Amerika yateekawo akakiiko okubuuliriza ku buvuyo obwaliwo nga January 6, 2021 Trump bwe yakunga abawagizibe okwekalakaasa nga balaga obutali bumativu nga Joe Biden awangudde akalulu ekintu Trump kye yawakanya ng’agamba nti akalulu ke baakabba.
Akakiiko akateekebwawo okunoonyereza kaakuhhaanyizza obujulizi okuva ku bajulizi 1,000 okuzuula ani eyakuma omuliro mu bantu era avunaanyizibwa ku bulumbaganyi obwakolebwa ne bufiiramu abantu bataano n’okulumya abaserikale 140 ne balumizibwa.
Palamenti yagenze okuyisa ekiteeso okuggula emisango ku Trump nga baakakwata abantu 900 ku by’ekuusa ku kwekalakaasa kuno n’okulumba palamenti ya Amerika.
Emisango egiggulibwa ku Trump n’abantu be kuliko; okukuma omuliro mu bantu okwekalakaasa, okugezaako okulemesa emirimu gya gavumenti egikolebwa m mateeka n’okwekobaana okwagala okuggyako gavumenti ya Amerika ekiyinza okwefaanaanyiriza okwagala okulya mu nsi olukwe.
Omwezi oguwedde, Trump yalangiridde nti ategeka kuddamu kwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2024 era agamba nti abamuggulako emisango n’okuttukiza ebyayita bali mu kusattira kubanga baakizuula nti abasinza amaanyi.