Abantu 28 be baakakwatibwa ku misango gy'obubbi bw'ente e Kamuli

Ku bantu bano, abawera 24 batwaliddwa mu kkooti ne basalirwa nga n'abalala bakyawerennemba n'emisango.

Abantu 28 be baakakwatibwa ku misango gy'obubbi bw'ente e Kamuli
By Godfrey Kigobero
Journalists @New Vision
#Kamuli #Kukwatibwa #Misango #Bubbi #Bantu

Poliisi y'e Kamuli eriko emisango gy'obubbi bw'ente 38 egigiroopeddwa era ku misango gino, abantu 28 be bakwatiddwa  wakati wa January ne May omwaka guno.

Ku bantu bano, abawera 24 batwaliddwa mu kkooti ne basalirwa nga n'abalala bakyawerennemba n'emisango.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Micheal Kasadha, ategeezezza nti, embwa za poliisi enkonzi z'olusu, nazo zikoze kinene mu kuyigga ababbi era abamu ku bano zeezizze zibakwata.

Agasseeko nti embwa zisobolera ddala okulondoola omubbi w'ebisolo ng'essaawa 24  tezinnayitawo n'akwatibwa.

Ayongeddeko nti okwongera mu kitundu abaserikale abalwanyisa obunyazi bw'ente , nakyo kikoze kinene mu kukendeeza obubbi bw'ebisolo mu kiseera kino.