Tayebwa ayanukudde Mpuuga ku by'ebbula ly'amafuta mu ggwanga

20th January 2022

NAMPALA wa gavumenti mu Palamenti, Thomas Tayebwa ayanukudde akulira oludda oluwabula gavumenti,  Mathias Mpuuga ku kusaba kw eyakoze ng’ayagala Palamenti eve mu luwummula etuuze olutuula olw’enjawulo ku bbula ly’amafuta eriri mu ggwanga, n’agamba nti tekyetaagisa kubanga ensonga gavumenti yagikozeeko dda.

Tayebwa ayanukudde Mpuuga ku by'ebbula ly'amafuta mu ggwanga
NewVision Reporter
@NewVision
#Tayebwa
10 views

Bya Lawrence Kizito                                                                            

NAMPALA wa gavumenti mu Palamenti, Thomas Tayebwa ayanukudde akulira oludda oluwabula gavumenti,  Mathias Mpuuga ku kusaba kw eyakoze ng’ayagala Palamenti eve mu luwummula etuuze olutuula olw’enjawulo ku bbula ly’amafuta eriri mu ggwanga, n’agamba nti tekyetaagisa kubanga ensonga gavumenti yagikozeeko dda.

Tayebwa asinzidde mu ofiisi ye ku Palamenti akawungeezi ka leero, n’agamba nti gavumenti yakizuula nti ebbula ly’amafuta lyaleetebwa enkola ey'akasoobo ey’okukebera baddereeva b’ebimotoka ebyetikka amafuta okugayingiza Uganda, era kino gavumenti yakiggyeewo era amafuta ne gatandika okuyingira eggwanga.

Ekirala agambye nti mu kiseera kino Palamenti eri mu kwekeneenya bajeti y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2022/23 era ng'obukiiko bwa Palamenti buli mu kusisinkana Minisitule n’ebitongole bya gavumenti eby'enjawulo okwetegereza ssente ze byetaaga okukozesa omwaka ogujja n’agamba nti tekyetaagisa kuwugula babaka kuva ku ddimo lino badde mu by’amafuta ate nga byakoleddwaako dda.

Agambye nti ekiddako kwe kulondoola abatunda amafuta abanaasigala nga bawanise bbeeyi yaago ate ng' amafuta gazzeemu okulabika, babonerezebwe.

Tayebwa okuvaayo kiddiridde Mpuuga okuwandiikira Sipiika wa Palamenti Jacob Oulanyah ng’amusaba ayite bukubirire Palamenti okuva mu luwummula ababaka basobole okuteesa ku bbula ly’amafuta eriri mu ggwanga.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.