ESSAZA ly’e Mbarara litongozza ekibiina kya Archdiocese of Mbarara Development Foundation (AMDEF) n’ekigendererwa ky’okulikulaakulanya.
Ekibiina kino Ssaabasumba ky’ayitiramu okusonda obuyambi obw’enjawulo naddala ssente okukulaakulanya essaza nga bayita mu pulojekiti ezitali zimu.
Omukolo gwabadde ku Krezia y’e Bubangizi mu disitulikiti y’e Mitooma nga gwetabiddwaako amyuka sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa era nga ye ssentebe w’ekibiina kino, ababaka ba palamenti n’abalala.
Mmissa yakulembeddwa Ssaabasumba w’e Mbarara, Lambert Bainomugisha eyasabye abantu bakole ebirungi nabo okufuna amakungula amalungi n’asaba abakkiriza okukwatirako essaza mu kampeyini gye batandise. Tayebwa yawaddeyo obukadde 100 ng’entandikwa era ku mukolo gwonna obukadde 361 ze zaasondeddwa ku buwumbi munaana ezeetaagisa.
Comments
No Comment