Edirisa Ssentamu omutuuze ku kyalo Nsekwa Musisi e Wakiso, y'akwatiddwa ku ky'okusobya ku baana be abakyasoma okuli ow'emyaka 12 n'owe 14 era nga kigambibwa nti ow’emyaka 14 ali lubuto.
Kitegeezeddwa nti ekikolwa kino, kibaddewo okuva mu June okutuuka mu October omwaka guno, nnyaabwe ng'ali mu katale.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Racheal Kawala, avumiridde ekikolwa kino era n'agamba nti agguddwako omusango gw'okusobya ku batanneetuuka ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.