OMUBAKA wa parlaiment e Butambala, Muwanga Kivumbi, akwatiddwa poliisi ne bamuggalira ku misango egy'enjawulo.
Kidiridde akavuyo akagambibwa okubeera mu kulonda okwakaggwa mu kitundu ekyo , mwe baakubira abawagizi amasasi agaabatta , n'abalala ne bakwatibwa.
Pulezidenti Museveni yavuddeyo n'agamba nti abamu ku battibwa , baalina ebijambiya nga bagezaako okulumba abasirikale babateme n'okubatuuseeko ebisago.
Omwogezi wa poliisi e Katonga Lydia Tumushabe, akakasizza okukwatibwa kw'omubaka n'agattako nti ekiseera kyonna, wakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.