OMUBAKA wa Kalungu West, Joseph Gonzaga Ssewungu ali mu kattu oluvannyuma lwa poliisi okutandika okumunoonyerezaako ku bigambibwa nti yayambye okutolosa eyakulira eby’okulonda e Kalungu, poliisi gw'erudde ng'eyigga.
Teddy Nabukenya yayisibwako ekiwandiiko ng'aggulwako emisango ku bigambibwa nti yadibaga eby’okulonda mu Kalungu era poliisi ebadde emunoonya nga n’essimu ze yali yaziggyako.
Omwogezi wa poliisi mu Greater Masaka, Twaha Kasirye agamba nti kituufu Nabukenya yeetaagibwa annyonnyole emivuyo egyali mu kulonda kw’e Kalungu era nga ne ffayiro yaggwa dda alindiddwa kutwalibwa mu kkooti kyokka yeebalamye okwogera ku misango egiyinza okuvunaanibwa abaamutolosa.
Nabukenya yabadde mujulizi wa Ssewungu okukakasa nti yawangula akalulu era n’alangirirwa mu bwenkanya nga bino byabadde mu kkooti y’omulamuzi Joyce Kavuma era nga ye yabadde asembayo okulaga nti okulonda kwatambula bulungi mu kitundu kye mu musango gwabwe ne Ismeal Ssemakula.
Mu kujja ku kkooti, Nabukenya yakukusiddwa era baamusanze atudde ku ntebe okwabadde Ssewungu ne mukyala we naye obwedda ng’atunudde wansi.
Oluvannyuma lw’okutegeera nti waali, poliisi yayungudde abaserikale ku mulyago gwa kkooti n’okwetooloola obwedda abalabiriza Nabukenya ng’abamu baabadde bambega baayo abakyala abaabadde mu ngoye za bulijjo n’ab’ebyambalo. Ne kabangali yasigadde esimbye ku wabweru wa kkooti.
Nabukenya olw’amaze okuwa obujulizi, yakomyewo ku ntebe y’emu wabula Ssewungu yalabiddwaako ng’alina akaama k’amukuba era kkooti olwawedde abawagizi be nga bali wamu n’akulira ebyokulonda e Kyotera, Esther Asiimwe ne bamukukusa mu nkola eyakazibwako eye ‘eggaali’ okutuuka mu mmotoka ya Sewungu, Toyota Land Cruiser V8 nnamba UAT 837P bwe batyo ne bagisimbula.
Mu kavuvung’ano kano, waliwo omuserikale wa poliisi Phiona Mirembe eyabadde agezaako okuggala ggeeti era yasimattuse n’omukono omunuubule. Kabangali ya poliisi yagezezzaako okuwondera nga baabuliddeyo dda.
Ssewungu bwe yafulumye kkooti ye ne mukazi ne baviirawo mu mmotoka ya munnamateeka we Caleb Alaka.