PULEZIDENTI Museveni awadde ekiragiro ku by’okuyimbula Dr. Kiiza Besigye ne Erias Lukwago abamaze ekiseera mu busibe. Minisita w’ensonga za Ssemateekaera Ssenkagale wa DP, Nobert Mao ye yabikkudde ekyama nga bwe waliwo enteeseganya ezigenda mu maaso ku by’okuyimbula Besigye ne Lukwago nga bakolera ku biragiro bya Pulezidenti.
Enteeseganya zikulembeddwaamu Gen. Salim Saleh eyalagiddwa okukola buli ekisoboka okulaba ng’obulamu bw’abasibe ababiri butereera.
“Ekiragiro kya Pulezidenti kya kwogera na buli muntu akwatibwako ennyo obulamu bwa Erias Lukwago ne Dr. Besigye, ku lw’obulungi bwa Uganda tubeere n’okukkaanya,” Mao bwe yagambye.
Yalaze essanyu olw’okuba ng’obulamu bw’abasibe ababiri bugenda butereera, wabula n’abawa amagezi bulijjo okumanya nti Gavumenti y’eri mu buyinza era buli kye bakola ebeera ebalaba. Mao yasabye wabeewo okukkaanya eggwanga litereere kuba zino nsonga z’abyabufuzi ezisobola okuggwa n’okukkaanya. Abantu baabulijjo, Mao yabasabye bakkirize enteeseganya okugenda mu maaso baggyeemu ebyokuteebereza kuba obukulu bw’ensonga bwetaaga ebintu ebimu okukuumibwa nga byakyama.
“Wagenda kubaawo okwogerezeganya omuli okwogera amazima, okwenenya n’okusonyiwagana buli kimu kiggwe mu mirembe,” Mao bwe yagasseeko.
Eky’okuba nga waliwo enteeseganya, Mao yagambye nti tekiyimirizisa misango egiri mu kkooti okwongera okuwulirwa wadde abasawo okukola ogwabwe. Yayogedde ku nkola za mirundi esatu ezigenda mu maaso omuli; okuwuliriza emisango mu kkooti, okujjanjaba abasibe awamu n’enteeseganya ezisuubirwa okuvaamu ekyamaanyi ekijja okumalawo obunkenke obuli mu misango. Mu kiseera kino ekisinga obukulu kwe kusooka okutaasa obulamu bw’abasibe kuba omuntu agenda okufa ne bwayimbulwa tekiba na makulu.
Besigye avunaanibwa emisango gy’okulya mu nsi olukwe ng’ali wamu n’omuyambi we Hajji Obeid Lutale n’omuserikale wa UPDF Capt. Denis Oola. Baamukwatira Nairobi mu Kenya nga November 16, 2024 n’oluvannyuma n’akomezebwawo mu Uganda n’aggulwako emisango gy’okulya mu nsi olukwe. Yazirika ng’ali mu kkooti n’atwalibwa mu ddwaaliro era okuvaolwo atoba n’obulwadde.

Besigye
l Dr. Lulume Bayiga, amyuka ssentebe wa PFF owa Buganda yagambye nti yayogeddeko ne Besigye ne yeegaana ebyokubeera mu nteeseganya n’omuntu yenna.
Yamutegeezezza nti ayagala mu ayimbulwe ku kakalu ka kkooti , afune obujjanjabi, n’oluvannyuma awozesebwe ku bimuvunaanibwa.
l Gye buvuddeko Ssaabawaabi wa Gavumenti, Lino Anguzu yasinziira ku kitebe kya The Justice Law and Order Sector e Naggulu n’agamba nti singa enteeseganya ezoogerwako zitambula bulungi, beetegefu okussa mu nkola ebituukiddwako. l Omumyuka wa Ssaabwandiisi wa PFF, Keneddy Okello yagambye nti eby’enteeseganya talina kyabimanyiiko kuba omusango gwatambula dda mu kkooti nga Gavumenti bw’eba erina obujulizi obulumiriza Besigye ne banne ebulage ereke omusango gusalibwe.
l Amyuka akulira olukiiko lw’oku ntikko olwa PFF, Wasswa Birigwa agambye nti ng’ekibiina tebalina kye baasazeewo ku by’okuteesa ne Gavumenti ku by’okuyimbula
Besigye ne Lukwago. l Ye omumyuka w’omwogezi wa FDC, Walid Lubega, yagambye nti enteeseganya za Besigye zigenda mu maaso nga zirimu n’abakulu abakulembera omukago gwa IPOD ogugatta ebibiina ebirina ababaka. l Minisita w’ensonga z’amawulire, Justine Kasule Lumumba yakakasizza enteeseganya nga bwe ziriwo era yasisinkanye Gen. Saleh ku nsonga y’em