Amawulire

Gaagano amateeka amapya gavumenti g'etaddewo ku kufulumya ebyapa bya 'Special title'

MINISTULE y’ebyettaka ettadewo amateeka amakakali ku kufulumya ebyapa ebiyitibwa ‘Special Certificate of Title’ .

Gaagano amateeka amapya gavumenti g'etaddewo ku kufulumya ebyapa bya 'Special title'
By: Jaliat Namuwaya, Journalist @New Vision

MINISTULE y’ebyettaka ettadewo amateeka amakakali ku kufulumya ebyapa ebiyitibwa ‘Special Certificate of Title’ .

Nabakooba Ng'annyonnyola.

Nabakooba Ng'annyonnyola.

Kati okuwa omuntu yenna ekyapa ekika kino gavumenti ejjanga kumala kulanga ku kyalo nti, waliwo ataddemu okusaba kisobozese abayinza okuba nga balina okwemulugunya ku ttaka eryo okwekubira enduulu nga bukyali nga satifikeeti y’ekyapa ekyo tennafuluma.

Amateeka gano okujja kiddiridde Gavumenti okuggya envumbo eyali yateekebwa ku kugaba ebyapa ekika kino emaze ebbanga ery’emyezi 2 okuva nga 14 August 2026.

Bwe yabadde ayogerako eri bannamawulire ku Media Center mu Kampala, Minisita w’ebyettaka Judith Nabakooba yannyonnyodde nti, baafuna okwemulugunya nti, ebyapa ebimu bitudde ku binnaabyo, obufere buyitiridde mu by’ettaka nga bannannyini byapa abatuufu oluusi bibabbibwako mu ngeri ey’olukujjukujju so ng’ate era n’emivuyo gyeyongedde mu kugaba ebintu by’abafu. 

Bino byonna balowooza bya kuggwaawo singa amateeka agateereddwawo ganaabeera gagobereddwa.

AMATEEKA AMAPYA
l Omuntu yenna kasita ateekamu okusaba ‘Special Certificate ‘ ey’ekyapa, abakungu okuva mu ofiisi ya gavumenti ey’ebyettaka okuli abapunta n’abawandiisi bajja kuba bateekeddwa okutuuka ku ttaka lino balyekkaanye bulungi era bakakasize ddala nti teririiko bantu wadde enkaayana.

l Bassentebe b’ebyalo bajja kuba bateekeddwa okuteekanga obupande ku ttaka obulaga nti, waliwo eyataddemu okusaba ‘Special Certificate’ ey’ekyapa eky’ettaka eryo kiyambeko abayinza okuba n’okwemulugunya okuvaayo nga bukyali.

l Ku mulundi guno abakulembeze b’akakiiko ak’ekyalo bonna 5 bajja kuba bateekeddwa okutuula okukola lipooti eraga ebikwata ku ttaka omuntu yenna ly’ayagala okufunirako ‘Special Certificate’ ey’ekyapa.

l Minisitule y’ebyettaka nga tennafulumya satifikeeti y’ekyapa kyonna buli mwezi bajja kusooka bateekenga okulanga mu mpapula z’amawulire nga balaga amannya gaabo abaagala ebyapa bino era nga amannya ge gamu gajja kusaasaanyizibwanga ku magombolola n’ebyalo awali ettaka eryo.

l Omuwandiisi (registrar ) owa ministule y’ebyettaka nga tannafulumya saatifiketi y’ekyapa kino ateekeddwa okusooka okumatirira ddala nti, ebyetaagisa ebituufu byonna bimuweereddwa ebikwata ku ttaka eryo.

l Gwe alina satifikeeti y’ekyapa kyo nga emmese zaagirya, yayulika oba ng’ekaddiye nnyo nga oyagala empya oteekedwa okugenda n’enkadde basobole okukolera endala.

l Gwe ayagala ekyapa kino era oteekeddwa okusooka okujjuza ffoomu 3, okuleeta ekiwandiiko okuva mu bannamateeka ekiraga nti, olina obwetaavu wamu ne lisiiti eziraga nti, osasudde omusolo gwa gavumenti okugoba ku by’ekyapa kino

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Byapa
Special Events
Mateeka
Gavumenti