Bya James Magala
SSENTEBE w’ekibiina ekigatta abaagusambako ekya Former Footballer’s Intiative, Paasita Paul Musisi asabye Bannabyamizannyo okukomya okwerwanyisa bokka okusobola okugenda mu maaso.
Bino bibadde mu bubaka bweyatisse Ssaabawandiisi wa Former Footballers’ Initiative, Kennedy Lubogo ku mukolo ogw’okwabya olumbe lw’eyali Ggoolokipa wa Coffee Marketing Board Robert Kiwanuka eyafa gye buvuddeko.
Emikolo gyabadde ku kyalo Kasozi mu Disitulikiti y’e Wakiso ng’ eno Paasita Paul Musisi yasiimye omugenzi Kiwanuka olw’okwagala bannabyamizannyo banne kwe yalina kyokka n’alaga obwennyamivu olwa bannabyamizannyo abeerwanyisa ensangi zino n’abalabula okukomya omuze ogwo kubanga guserebezza nnyo ebyemizannyo mu ggwanga.
Yasabye omusika wa Kiwanuka, Ben Ssekiziyivu okusigala ng’ agatta abantu ba ffamire y’omugenzi awatali kulumangana n’asuubiza nti ng’abaagusambako baakusigala nga batambulira wamu ne ffamile.
Ye Omusika Brian Ssekiziyivu, yasiimye abaagusambako olw’okwagala ennyo kitaawe n’ategeeza nti ne mu biseera bye byonna ebyasembayo baali batambula naye bulungi n’ategeeza nti mwetegefu okusigala nga bakolera wamu okwongera okusitula erinnya ly’omugenzi.