Ssentebe wa bassentebe mu division y'e Bweyogerere Hakiza Dickson, adduukiridde abantu abafiirizibwa emmaali yaabwe mu muliro ogwakwata akatale k’omu Kasubi , ekisangibwa mu zooni y'e Kakajjo mu Bweyogerere division, Kira .
Enjego eno, yagwawo ku ssaawa bbiri ez’ekiro, abasuubuzi abasukka mu 6 emmaali yaabwe n'etotomokera mu muliro guno era ku bintu ebyasaanawo, kwekuli enkoko, amanda , botiiki y’engoye omwagendera ne ssente enkalu, emidaala gy’ennyaanya, amatooke, firiigi, sitoowa ya ssigiri, obummonde n’ebirala.
Ssentebe Hakisa Dickson Ng'alambula Abakyala Abajjibwako Emmaali Yaabwe Ku Sande Mu Kasubi (2)
Hakiza ate nga ye ssentebe wa Kireku Main mu Bweyogerere, yabagumizza nti kimukakatako nga akulira bassentebe mu division eno okudduukirira abantu be era n’abasaasira olw’ekizibu eky’amaanyi kye bagwako emmaali yaabwe yonna n'eyonoonekera mu nnabbambula w'omuliro, n’agamba nti agenda kulaba ng’abasakira okuzzaawo ebimu ku bintu bye baafiirwa mu njega eno ako era n’abatikka ettu, olwo n'abafalaasira okumanya abakulembeze ababalumirirwa so ssi kumala galonda muwawa!
Ssentebe Hakiza Dickson Ng'abuuza Ku baakosebwa Omuliro
Paul Omoding ssentebe w’aba Boda boda mu kitundu kino yeebazizza nnyo Hakiza olw’obuyambi bw’awadde abantu b’omu kitundu kye abaafuna obuzibu obwo, nga tafudde na ku bibiina byabufuzi .
Ate Salamu Kizito kansala w’abavubuka ku division y'e Bweyogerere abasuubizza naye okubasakira okulaba nga waakiri bazzaawo emmaali yaabwe eyasaanawo mu muliro ezzibwawo.
Nnaabakyala Asiah Naluggya
Abasuubuzi okuli Annet Nakalyango, Rechael Najjuma, Faridah Kasasa ne Asia Naluggya ng’ono ye Nnaabakyala w’ekyalo kino, beebazizza nnyo ssentebe olw’okubadduukirira ate n’abagumya ne bagamba nti omuntu akubeerererawo ng’oli mu buzibu asinga alagiriza, era bamusiimye olw’okujja n’abalambula era n’atajja ngalo nsa wabula n'abakuba ettu.