Amawulire

Ssemaka atemyeko mukazi we omukono naye ne yeewa obutwa yeggyewo!

OMUSAJJA akkakkanye ku mukazi we n'amutemako omukono naye ne yeewa obutwa ng'agezaako okwetta. 

Ssemaka atemyeko mukazi we omukono naye ne yeewa obutwa yeggyewo!
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

OMUSAJJA akkakkanye ku mukazi we n'amutemako omukono naye ne yeewa obutwa ng'agezaako okwetta.

 

Poliisi emukutte n'emutwala mu ddwaaliro okufuna obujjanjabi n'oluvannyuma asimbibwe mu maaso g'omulamuzi , ku musango gw'okugezaako okutta omuntu, naye okugezaako okwetta.

 

Bino bibadde ku kyalo Kadholwe mu muluka gw'e Busolwe mu ggombolola y'e Kagumba mu disitulikiti y'e Kamuli , ilisa Stephen ng'amanyiddwa nga Kutegana 50, gy'agambibwa okutemako mukyala we Nite Bakyaato 40, ekibatu, n'amutuusaako n'ebisago eby’amaanyi ku mubiri.

 

Kigambibwa nti bano bombi, baafunye obutakkaanya era omusajja n'agoba omukazi, nti mu kumusindiikiriza, kwe kumutema, omukazi n'akuba enduulu omusajja n'adduka.

 

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti bamusanze naye azirise nga yeewadde obutwa ne bamutwala mu ddwaaliro e Kamuli gy'ali mu kufunira obujjanjabi, ng'okunoonyereza ,bwe kugenda mu maaso.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Amawulire
Musajja
Kutema
Mukono