Amawulire

Lukwago azziddwa mu kkomera e Luzira

ERIAS Lukwago aggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago gye yatwalibwa okufuna obujjanjabi n’azzibwayo mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’abasawo abakugu okumala ebbanga nga bamukebera buli kitundu kya mubiri.

Katikkiro Mayiga ng'akutte ekitabo Nnaalongo Lukwago Zawedde (owookubiri ku ddyo) kye yamuwadde ng'akyalidde ffamire ya Lukwago ku Lwokusatu.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalist @NewVision

ERIAS Lukwago aggyiddwa mu ddwaaliro e Mulago gye yatwalibwa okufuna obujjanjabi n’azzibwayo mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’abasawo abakugu okumala ebbanga nga bamukebera buli kitundu kya mubiri.

Munnamateeka we, Medard Lubega Sseggona yategeezezza eggulo nti abaserikale b’ekitongole ky’amakomera abamuvunaanyizibwako baabategeezezza nti, Lukwago yazziddwa e Luzira wabula babadde tebannabawa lipooti yakoleddwa eraga obulwadde n’embeera ya Lukwago.

Kkooti y’e Makindye yagaana okuyimbula Lukwago asobole okuwoza ng’ava waka kyokka n’eragira abakulira ekkomera bamutwale mu ddwaaliro e Mulago ajjanjabwe.

Omulamuzi yalagira nti, oluvannyuma abasawo bakole lipooti ku mbeera y’obulamu bwe kubanga yategeeza nti mulwadde. Lukwago abadde ajjanjabibwa n’okukeberwa wakati mu bukuumi ng’abeebyokwerinda bakkiriza mukyalawe Nnaalongo Zawedde ne munnamateeka we Medard Lubega Ssegona bokka okumulaba.

Lukwago

Lukwago

Bannamateeka baategeeza kkooti engeri obulwadde bwa Lukwago gye bwattuka nga entabwe yava ku ngeri gye yakwati bwamu n’atwalibwa mu kifo ekitaasooka kumanyibwa.

Kigambibwa nti, yamala ennaku nga takozesa ddagala lye wadde okutuula mu ntebe egonda, abasawo gye baamulagira n’alaga nti, n’ekyuma kye baamuteekamu okuwanirira ensingo kyaseeseetuka bwe baamukozesa dduyiro ate nga ekiseera abasawo kye baamuwa okuddayo e Buyindi okumwekebejja kyali kituuse ng’ayagala akkirizibwe okuddayo afune obujjanjabi. Sseggona yagambye balindiridde kubawa lipooti bagyanjule mu kkooti.

KATIKKIRO AKYADDE MU MAKA GA LUKWAGO

Ku Lwokusatu akawungeezi, Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yakyalidde aba ffamire ya Lukwago mu maka ge e Wakaliga n’agamba nti, obunkenke obuli mu ggwanga nga buleeteddwa okukwati bwa kwa bannabyabufuzi n'abalwanirizi b'eddembe ly'obuntu bugenda kufiiriza nnyo eggwanga ssinga tebusalirwa mangu magezi.

Yagambye, obunkenke buno buleetedde Uganda okwogerwako ebikyamu mu mikutu gy'amawulire egy'amawanga g'ebweru ekiyinza okukosa ebintu ng'ebyobulambuzi.

Yagambye, ng’abakulembeze mu Bwakabaka bwa Buganda, tebasobola kwesamba nsongazigwa ku Lukwago kubanga muntu wa Kabaka era azze yeetaba mu nsonga z'Obwakabaka.

Yayongeddeko nti, ensonga zonna ez'obusibe n'obulamu bwa Lukwago bazigoberera era n'asaba abamulinako obuvunaanyizibwa essaawa eno bakole ekyo ekitaasa obulamu bwe nga bwe balowooza ne ku ddembe lye ng'omuntu.

Munnamateeka wa Lukwago, Ssegona yalambululidde Katikkiro embeera Lukwago gy'ayitamu ey'obulwadde n'alaga obwennyamivu nti, wadde ali mu mbeera mbi, yazziddwaayo mu kkomera e Luzira.

Mukyala wa Lukwago, Nnaalongo Zawedde Lukwago yakwasizza Katikkiro Mayiga ekitabo bba kye yamusabye amuwe okutuukiriza akalombolombo kaabwe nti, buli lwe bakyalagana buli omuawa munne ekitabo.

Minisita w'amawulire e Mmengo era omwogezi w'Obwakabaka, Israel Kazibwe naye yabaddewo

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: