NAKAMYA
KALIISOLIISO wa Gavumenti akutte omwogezi wa Palamenti, Chris Obore, n’abakozi abalala musanvu abagambibwa okweyambisa obubi ofiisi n’okubulankanya ssente z’omuwi w’omusolo eziri mu buwumbi mu kiseera eyali sipiika Anita Among we yabeerera mu ofiisi.
Omwogezi wa ofiisi ya Kaliisoliiso, Ali Munira, yagambye nti Obore yakwatiddwa eggulo n’abakozi ba Palamenti abalala okuli; akulira abakozi, Daniel Adilo, addukanya ofiisi ya sipiika, Leonard Okema, avunaanyizibwa ku by’okunoonyereza, Rajab Kaaya Ssemalulu, avunaanyizibwa ku by’abagenyi, Emmanuel Okwi, omuyambi wa Palamenti, Stella Itute, Vincent Otabeta (Capacity development officer) n’avunaanyizibwa ku mirimu gya SACCO y’ababaka, Methods Murebe.
Abakwate bonna baggyiddwa eggulo ku Palamenti ne basooka batwalibwa ku ofiisi za kaliisoliiso ezisangibwa ku luguudo lwa Parliamentary Avenue, gye baggyiddwa oluvannyuma ne batwalibwa mu kkooti ewozesa emisango gy’enguzi n’obulyake.
BASINDIKIDDWA KU LIMANDA OKUTUUKA JULY 7
Abavunaanibwa baasimbiddwa mu kkooti ewozesa abalyake n’obukenuzi ey’omulamuzi w’eddaala erisooka Esther Asiimwe.
Omuwaabi wa Gavumenti, Daisy Acio, yasabye omulamuzi agira akuumira abakwate mu kkomera nga bwe bamaliriza okunoonyereza kuba bwe banaaba ebweru basobola okukutaataaganya.
Bannamateeka b’abawawaabirwa baasabye abasibe baleme kusibwa bbanga ddene kuba baagala kuteekamu okusaba kwabwe beeyimirirwe.
BAVUNAANIDDWA GWA KUBULANKANYA SSENTE EZIRI MU BUWUMBI
Okusinziira ku mpaaba, Bukedde gye yalabyeko eriko omukono gwa Kaliisoliiso;
l Aisha Naluzze Batala, bamulumiriza Obore okubulankanya 5,253,100,000/- wakati wa 2023 ne 2026.
l Daniel Adilo kigambibwa nti wakati wa 2023 ne 2026 ng’akulira abakozi yabulankanya 14,608,613,150/-
l Ye Leonard Okema naye bamulumiriza okubuzaawo 3,489,400,000/- wakati wa 2023 ne 2026 we yabeerera nga y’addukanya ofiisi ya Sipiika wa Palamenti.
OMUYIGGO GWATANDIKIRA KU AMONG
Okunoonyereza ku buli bw’enguzi ku Palamenti n’okwegaggawaza gwatandikira ku yali Sipiika Anita Among nga May 16, 2026.
Okuva olwo ebitongole ebinoonyereza okuli ekya Crime Intelligence, amagye, ofiisi ya Kaliisoliisi wa Gavumenti n‘ebirala baazingako amaka ga Among ag’enjawulo okuli; ag’e Nakasero, Kigo, Ntinda ne Bukedea ne baggyayo ebizibiti eby’enjawulo omwali n’emmotoka ez’ebbeeyi mukaaga okuli ne ya Rolls-Royce ebalirirwamu obuwumbi obusatu n’obukadde 500.
Palamenti yennyini nayo baagirumba ne babaako ebiwandiiko ebikulu bye baggyayo ng’ebimu biraga engeri abakozi gye babadde bafunamu ssente z’ekitongole mu ngeri eteri nnambulukufu.
Omuyiggo oluvannyuma gwadda ku bakozi ba Palamenti nga waliwo okwebuuza engeri abawera 319 gye baafunamu emirimu okuva mu 2021 nga tegisoose kulangibwa mu kyapa kya Gavumenti (Gazzete) n’empapula z’amawulire nga bwe kirambikiddwa mu tteeka. Baakoma okulanga mu 2016.