Ssemaka agambibwa okutta mukyala we gwe yateeberezza okumwendako poliisi emuyigga!

POLIISI eyigga ssemaka ow’ebbuba  agambibwa okutema mukyala we ekiso ekyamuviiriddeko okufiira mu ddwaliro e Nyimbwa gye yabadde addusiddwa ng’apooca n’ebisago.

Ssemaka agambibwa okutta mukyala we gwe yateeberezza okumwendako poliisi emuyigga!
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
#Amawulire #Kanyike #Poliisi

POLIISI eyigga ssemaka ow’ebbuba  agambibwa okutema mukyala we ekiso ekyamuviiriddeko okufiira mu ddwaliro e Nyimbwa gye yabadde addusiddwa ng’apooca n’ebisago.

 

Bino byabadde ku kyalo Namabale mu ggombolola y'e Nyimbwa mu disitulikiti ya Luweero omusajja eyategeerekeseeko erya Dawudi bwe yatemye mukyala we  Edith Nabayego 20, ekiso.

Twineamazima ng'annyonnyola.

Twineamazima ng'annyonnyola.

Kigambibwa nti omugenzi yabadde agenzeeko wa nnyina kugulira mwana we gwe yazaala nga tannajja mu bufumbo buno byetaago bya kuddayo ku ssommero.

 

Olwamaze okubigula n’atwalako nnyina mu bbaala emu amuweemu era olwamaze ne baawukana ku ssaawa 3:00 ez’ekiro addeyo mu maka ge kyokka bba eyalabye nga tadda yamulondodde n’alaba ebyabadde mu bbaala n’abaako we yamuteegedde.

 

Omwogezi wa poliisi mu Savanna, ASP Sam Twineamazima yategeezezza nti omukazi yabadde mu kkubo ng’addayo awaka bba eyabadde amuteeze n’amutema ekiso mu mukono ogwa ddyo n’addukira mu nsiko ng’alaajana.

 

Abaddukirize omwabadde ne nnyina eno gye baamusanze ne baamuddusa mu ddwaliro e Nyimbwa gye yafiiridde.

 

 Twineamazima yategeezezza nti omulambo gwatwaliddwa e Kasana okwekebejjebwa nga bwe banoonyereza.

 

Poliisi yategeezezza nti entabwe erabika yavudde ku musajja atannakwatibwa kuteebereza mukyala we kwagala basajja balala.