Polisii ekutte omusajja agambibwa okutta muganzi we ow'emyaka 56 n'amweziikira , oluvannyuma lw'okufuna obutakkaanya naye e Buyende.
Embwa ezibadde zitandise okuziikula ebitundu by'omubiri gw'omugenzi, ze ziwalirizza abatuuze okuzuula omulambo gwa Namukose ogwaziikibwa mu ntaana, ne batemya ku poliisi etandikiddewo omuyiggo.
Aggrey Lubaale 40 ,omutuuze mu ggombolola y'e Bugaya e Buyende, ye yakwatiddwa poliisi ku bigambibwa nti yasse Noor Namukose 56, abadde muganzi we.
Kino kiddiridde okufunamu obutakkaanya , Namukose n'agoba Lubaale ewuwe ekirudde nga kimunyiizizza , nti kwe kumuteega n'amutta , omulambo n'aguziika.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, agambye nti Lubaale bamukwatidde Luuka gy'abadde yeekwese era ne bamuzzaayo e Buyende ng'okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.