Wamma mukyala Obama, omuntu bw’aba akooye Uganda ng’ayagala okufuna obutuuze mu America akola atya?
Eby’okubeera mukyala Obama obiggye wa?
Ky’ogamba Michelle Obama mukyala w’eyali Pulezidenti wa America ofaanana mufaanane oba omulinako akakwate?
Nze ndi Munnayuganda, maama anzaala ye Anne Mbabazi.
Ku kyalo kuno bakuyita mannya ki?
Nze Jane Tasha Natasha. Olaba bwe nkukutte!
Ogambye nti tolina kakwate ku ‘first family’ kati wuuyo gwe Natasha. Omaze n’oyogera amazima?
Bazadde bange tekuliiko munnabyabufuzi n’omu.
Nze Natasha mannyi omu yekka, muwala wa Pulezidenti Museveni.
Amannya tegaliiko bwannannyini. Naawe osobola okuzaala omwana n’omutuuma Natasha.
Nzikakkanye, mbadde mannyi njogera na muwala wa mukulu. Ye alyatya oyo?
Ani gwe wampa mukukuumireko?
Tasha Natasha
Ngamba muninkini wo eyamira ppini n’akussa awaka n’asalawo puleesa zimukube olw’okutya okukukwana?
Hahahaha.. oyo simulina, bw’oba oyogera ku musajja.
Abawala mutubuulire muntu eyabagaana okwogera amazima ku by’abasajja ffe tumwekolereko?
Kati obadde oyagala nkugambe nti ndi mufumbo ng’ate siri.
Kale bw’oba toli mufumbo, kwatayo omutwalo ogumpe nkakasize ddala nti oyogera mazima?
Ate ebyo mwabitandise ddi? Ssente yange ya kikazi simala gagigabaagaba ntyo.
Bwe tumala okumanya eyabagaana okwogera amazima, tugenda kuzzaako ‘ekikazi’ kitunnyonnyole abakazi bwe batuwa ku ssente zaabwe kiki ekibatuukako?
Oba ani yakumpendulidde. Onjagaza ki musajja ggwe?
Njagala kumanya, omuntu bw’aba anaawangula omutima gwo alina kubeera na bisaanyizo ki nnoonye ebyange nga bukyali?
Saagala bingi. Omusajja kasita abeeramu n’akasente ng’akagaba ate ng’atya Katonda
kuba mu kutya Mukama, amagezi mwe gasookera.
Era gye biggweeredde ng’okomezzaawo ssente mu by’oyogedde ani yabatuma
ssente bawala mmwe?
Mukwano bw’obeeranga n’omukazi nga tayagala ssente mugobe kuba agenda kukussa
obwavu.
Okimanyi ebyo bye mukulembeza ssente bye bigenda okubadibiza ku luggya emyaka
gy’okufumbirwa gibayiteko?
Mukwano, gumira kw’oyo gw’olina atayagala kulya ku ssente zo naye kimanye nti
basajja abalina ssente zaabwe gye bali era bajja kutuwasa mu linnya lya Yesu.
Olaba obiyingizzaamu Yesu ensonga ya ddala. Ye omubiri gwo ogulisaaki ekyo ekigufaananya ng’ekiyana ky’ente enzungu?
Njagala nnyo mukene naddala ka ssupu ako n’amatooke.
Nga sinnakusibuula, sooka ombuulire musajja kika ki gw’otosobola kuganza waakiri okudiba?
Omusajja omwavu, omucaafu ate ng’awagira Arsenal bwandabanga mu kkubo nga nzija
yeeyongereyo wala.