Omugenzi Ssabepiskoopi Dr. Joseph Nakabaale Kiwanuka, eyali Ssabasumba w’essaza ekkulu ery’e Lubaga, abakulu e Lubaga kyaddaaki basazeewo okumuziika. Ebisigala by’omusiige wa Katonda ono bimaze emyaka 59 mu Lutikko e Lubaga nga ssibiziike. Ono bweyafa, nga February 22, 1966, abakulu baasalawo aleme kuziikibwa olw’eby’afaayo bye ebyeewuunyisa. Omubiri gwe baagukaza, ne baguteeka mu ssanduuke enzimbe, kyokka nga mumaaso eriko ekirawuli, ekyasobozesanga Abakristu okumulaba bulambalamba, bwebaabanga bazze okusoma mmisa mu Luikko e Lubaga, n’okumusabira.

Abantu nga bali mu mmisa y'okujjukira Ssaabeepisikoopi Kiwanuka
Kyokka emyaka bwegyagenda giyita, omubri gwe gw'agenda gwesika, era ne gutandika obutalabika bulungi. Abakulu kwekusalawo endabirwamu eyo n’esiigibwa kkala, nga omuntu bw’ajja asoma busomi ssaala, naye nga Ssabepiskoopi tasobola kumulaba.
Kyokka ate luno jjuuzi, nga essaza ekulu ery’e Kampala lyeteekerateekera okujaguza emyaka 100 egya Lutikko y’e Lubaga, abakulu abaali bakola ku nsonga z’okuyooyoota Lutikko, ngabakulemberwa Ssentebe waabwe Engineer Pius Mugalaasi, baleeta ekiteeso nti entaana z’Abepiskoopi zonna eziri mu Lutikko, zibeere nga zifaanagana, ng’emu kungeri ey’okulabisa obulungi Lutikko. Okusunziira ku Faaza Richard Nnyombi, eno y’ensonga lwaki Ssabepiskoopi Kiwanuka y’ajjiddwa ku ngulu, n’aziikibwa mu ntaana.

Aba Uganda Funeral Service nga basitudde omubiri gw'omugenzi Kiwanuka
Ssabepiskoopi muteerabirwa Dr. Joseph Nakabaale Kiwanuka y’aziikiddewa mu Lutikko e Lubaga ku Lwokusatu (December 17). Omukolo gw’atandise ne mmisa eyayimbiddwa Ssabepiskoopi Paulo Ssemogerere ng’ali wamu ne Ssabepiskoopi Dr. Augustine Kasujja (Omubaka wa Paapa), Omukulu w’ekibiina ky’Abaminsane ba White Fathers Fr. Vincent Lubega, Cansala w’essaza Fr. Dr. Pius Male, Bwanamukulu wa Lutikko Fr. Achilles Mayanja, n’Abasaserdooti abalala.
Ssabasumba Ssemogerere y’atenderezza nnyo Dr. Joseph Kiwanuka gweyayogeddeko ng’Omwepiskoopi omumalirivu ate ow’amazima, ey’alwanirira ennyo enkulaakalana y’abantu be, n’eddembe ly;obuntu, era nga yali tasirika bweyalabanga ensonga enyigiriza abantube. Y’amuyise mulanzi y’ennyini, kubanga ebintu bingi byeyayogeranga, oba byeyalabulanga abantu, oluusi nebatamuwuliriza, mukiseera kino byebiriwo, era byebibonyaabonya Bannayuganda,

Entaana y'omugenzi Kiwanuka
Ssabasumba y’aziikiddwa mukifo kyenyini omubiri gwe wegwabadde gwagalamizibwa. Mubulamu bwe, Ssabepiskoopi Kiwanuka teyali mwejalabi, ate nga n’ekibiina kye ekyaba White Fathers, tekyagala byakwejalabya, nga oba oli awo eno y’ensonga lwaki y’aziikiddwa mukimpowooze. Entaanaye nayo teyabaddemu majolobero; y’abadde ntaana eyabulijjo, ng;ewundiddwa ne bubbulooka obutono (half-bricks).
Kati mu Lutikko mulimu entaana zzatu; ey’Omwepiskoopi Edwardo Michaud, eya Ssabepisjoopi Dr. Cyprian Kizito Lwanga, ate n’eno eya Dr, Joseph Nakabaale Kiwanuka. Kyoka waliwo nentaana endala 3 ezaasimibwa mubiseera by’ekijaguzo ky’ekyasa kya Lutikko, nga zirindiridde Bassabepiskoopi abanaddako okufa.
Wewaawo ng’omukolo gwabadde gwakimpowooze, ekitiibwa kyagwo ky’avuddeyo bulungi nnyo, era ng’owulira ng;oziika Ssabepiskoopi.
Ebikuuno bya Ssabepiskoopi Kiwanuka
Yazaalibwa Nakirebe, mu ssaza ly’e Mawokota, nga June 25, 1899.
Ono yakola ekyali tekibangawo bweyafuuka Omwepiskoopi Omuddugavu omubereberye mu Africa (wansi w’eddungu Sahara), era Paapa Pio XII bweyali amutukuza mu Klezia ya Petero Omutuukirivu e Roma (October 29, 1939), y’amulabula nti baali bamutaddewo mu ngeri y’akugezesa Bafirica, era nga ssinga ebintu bimulema, teri muddugavu y’ali ajja kuddamu kufuulibwa Mwepiskoopi, sso ssinga yali akoze bulungi, Abafrica banne yali ajja kuba abagguliddewo oluggi.

Ekifo awasooka okuterekebwamu Kiwanuka
Dr. Nakabaale Kiwanuka y’asooka kuba Mwepiskoopi w’e Masaka era ng’eno y’akolayo by’attendo byereere. Y’akulaakulanya abantu mu mwoyo nemumubiri. Y’anoonya ssikaala e Bulaaya n’asomesa abantu bangi, n’addala mukisaawe eky’eby’obulimi, n’obusuubuzi.
Y’eyatandikawo n’ekibiina ky’Obwegassi eky’asooka, kyeyatuuma “Bwavu Mpologoma (bw’oteerwanako ekkulya).” Y’alwanirira omwana omuwala bweyatandikawo essomero ly’abawala eryasooka mu Masaka, erya Christ the King Girls Kaliisizo (1954). Mubiseera weyabeerera e Masaka, ekitundu kinon kyekyali kisinga okweyagaza mu Uganda yonna. Ate abantu beyasomesa eby’obusuubuzi, beebajja nebeefuga obusuubuzi mu Kampala, era nga mu myaka gya 80 ne 90, beebali bannannyini Kikuubo.
Dr. Kiwanuka ebyafaayo y’asooka kubikola bweyali akyasoma e Roma, bweyakola ebigezo bya Theologia n’Amateeka g’a Klezia (Canon Law), banne Abazungu n’abakubya ssubi, era nafuna ddiguli ey’obwa Dokita, ey’eddaala erisooka, mumasomo gombi.. Abazungu baasigala bamuwanda lulusu, era bw’atyo y’adibya endowooa eyaliwo, ng’Abazungu abamu balowooza nti obwongo bw’Abafrica bwakibogwe.

St Cecilia kkwaya ye Lubaga nga bayimba mmisa
Dr. Kiwanuka y’eetaba mu Luliikom olwa Vatican Council II (1962-65), olw’aleeta enkukakyuka ez;omuggundu muby’entendereza n’enziurukanya y’Eklezia. Ng;ali mu lukiiko luno, y’afuba nnyo okulaba nga Abajulizi ba Uganda bonna balangibwa mu lubu lw’Abatuukirivu. Dr, Kiwanuka era ye Munnauganda eyasooka okwegatta kukibiina ky’Abaminsane ba White Fathers. Mubiseera bye eby’Obwesiskoopi, yafuna nnyo okulaba ng’Abakristu bayingiza ssente mu nsawo zaabwe, ate oluvannyuma babe ngabasobola okuyimirizaawo Klezia, n’okuwa emisolo egyikulaakulanya eggwanga.
Ekirowoozo ky’okutandikawo Centenary Bank, ne Uganda Martyrs University, nakyo Ssabepiskoopi Kiwanuka yeyasooka okukireeta, era nga yeyayita muno ebibiina by’Eddiini, nga The Grail, ne Carmeliets, ate n’amakampuni nga ROKO. Kiwanuka era yeyaaweerera Fr. Dr. James Kabuye omuyiiya w’enyimba za Klezia asinga mu Uganda ne mu Africa.

Ssaabasumba ng'asoma mmisa y'okujjukira Kiwanuka e Lubaga
Ssabepiskoopi Kiwanuka era ajjukirwa nnyo olw’ettoffali eddene lyeyateeka kuby’Obufuzi mu Uganda. Yagezaako okuyamba Bannauganda okwetekerateekera obulungi Ameefuga g’Egwgnga, ng’ayita mu bbaluwa ye gyeyayita Church and State:Guiding Principles (1961), mweyalabulira kukabi Buganda keyali eyolekedde ssinga Kabaka ayingizibwa muby’obufuzi, era n’avumirira nnyo omukago ogwali gutegekebwa wakati w’ekibiina kya UPC ne Kabaka Yekka.
Mu Janwaari wa 1961, Dr. Kiwanuka yakyusibwa okuva e Masaka, nafuulibwa Ssabepiskoopi w’e Lubaga, era eno gyeyafiira nga Fbruary22, 1966, ng'aweza egy'obukulu 67 gyokk