OLUVANYUMA lwa gavumenti okulagira ebitongole byayo okwenyigira mu kaweefube w'okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya , ekitongole kye by'obulambuzi kitalaze enteekateeka egenda okuyitibwamu okulaba nga batuukiriza kawefube ono omwaka 2030 wanatukira era nga bino bibadde Ntebe mu Batonical Gardens .
Dr Charles Olaro okuva mu Kitongole kye byobulamu nga ateekako omukono ku kiwandiiko.
Ekitongole kye by'obulambuzi kikwataganye ne UTB wamu ne UWA okulaba nga kaweefube ono atambula bulungi nga omuwandiisi wenkalakalira yakulembedemu wamu ne Dr Charles Olaro okuva mu kitongole kye by'obulamu n'abakungu abalala .
Dr Charles Olaro okuva mu kitongole kye by'obulamu agambye nti omuwendo gwa bantu abalina akawuuka akaleeta mukenenya gwongedde okukendeera nga mu kisera kino abantu 20,000 bebaffa buli mwaka okuva ku bantu 100,000 mu mwaka 2010 kyagambye nti kirungi . Ono agambye nti gavumenti yakwongera okukwatira ekitongole kye by'obulamu okulaba nga batukiriza enteekteeka yokulwanyisa mukenenya omwaka 2030 wanatukira .

Omuwandiisi we Nkalakalira okuva mu Kitongole kye byobulambuzi nga ateekako omukono ku kiwandiiko
Omuwandiisi wenkalakalira okuva mu kitongole kye by'obulambuzi Doreen Katusiime agambye nti omulimu gwe bakola gutwaliramu abantu nolwekyo balina okukwatira awamu okuyamba okulwanyisa akawuka akaleeta mukenenya nolwekyo balina okuterawo abakozi babwe abalina akawuka kwosa nabalambuzi embeera enungi