MU bubaka bwe, ssaabasajja Kabaka Ronald Mutebi bw’atisse omumyuka wa Katikkiro ow’okubiri, Robert Waggwa Nsibirwa bw’asomedde mu kusaba kwa ssekukkulu mu lutikko e Namirembe, asabye bannaddiini n’abantu bonna okusabira eggwanga lyaffe okufuna emirembe ejja namaddala egitakyaliwo ennaku zino.
Omumyuka Wakatikiro Waggwa Nsibirwa Ng'awaayo Ekirabo Ku Ddyo Ye Minisita Ritah Namyalo.
Kabaka agambye nti obutawa kitiibwa enfuga egoberera amateeka, abantu okwefaako bokka , okweyagaliza n’okunyigiriza omuntu wa wansi bye bivuddeko abantu okwevuma eggwanga n'okuggwaamu essuubi ekizing’amizza enkulaakulana.
Kabaka era akubirizza bannabyabufuzi n'abakulembeze nti okukyusa embeera za bantu okuva mu bwavu weetaaga okubaawo okwekuba mu mitima. Minisita W'e Mmengo Ritah Namyalo Kisitu N'omukubiriza W'olukiiko Lwa Buganda Patrick Luwagga Mugumbule.
Awabudde wabeewo okuddamu okukubaganya ebirowoozo mu ssemateeka kubanga ensi n’emirembe bikyuka ate nga bingi nnyo ebitali mu ssemateeka.
Akubirizza buli Munnayuganda okujjumbira enteekateeka za gavumenti ez’okwekulaakulanya n’okweggya mu bwavu n'okulondoola ensimbi z’omuwi w'omusolo nga baloopa abatakoze bituukiridde eri abo be kikwatako.
Kabaka era ajjukiza abantu nti endwadde omuli siriimu zeeyongende n’akubiriza abavubuka obutalekerera bazadde baabwe abateesobola n’okukomya okulera engalo.
Asabye abantu bulijjo okubeera abavumu nga boogera ku nsonga ezinyigiriza abantu.