Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Bungereza awaddeyo ofiisi

ABADDE Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Bungereza okumala emyaka egisoba mu 10, Justin Welby awaddeyo obuyinza eri eyamuddidde mu bigere oluvannyuma lw’okulekulira.

Ssaabalabirizi Justin Welby eyawummudde
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Bya Willy Semmanda

ABADDE Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Bungereza okumala emyaka egisoba mu 10, Justin Welby awaddeyo obuyinza eri eyamuddidde mu bigere oluvannyuma lw’okulekulira.

 Welby 69 yalekulira mu November w’omwaka oguwedde oluvannyuma lw’okuteekebwako akazito ku ngeri gye yakwatamu ensonga z’okulinnyirira eddembe ly’abaana abagambibwa nti baakabassanyizibwa munda mu Kkanisa ya Bungereza.

Omusajja eyavaako akabasa ye John Smyth eyategekanga enkung’aana z’Abakristaayo eziyitibwa Christian summer camps nga muno mwe yasinziiranga okukabassanya abaana naddala abalenzi abasoba mu 130 nga kigambibwa nti newankubadde abantu bangi baamwemulugunyaako ne batuuka ne mu ofiisi ya Ssaabalabirizi Welby talina kye yakolawo okutuusa omusajja ono lwe yafa mu 2018 e Cape Town mu South Africa ku myaka 77.

Oluvannyuma lwa Welby okuteekebwako akazito, mu November yalangiridde nti asazeewo alekulire ne yeetondera bonna ebikolwa bya Smyth.

Ssaabalabirizi w’e York Stephen Cottrell ye yalondeddwa nga Ssaabalabirizi w’e Canterbury ow’ekiseera ng abwe balinda okulonda omuggya.

Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Samuel Stephen Kazimba bwe yawulira amawulire g’okulekulira kwa Welby yafulumya ekiwandiiko mwe yategeeza Abakristaayo mu Uganda nti kino akisanyukidde kubanga omukulu oyo abadde akoze kinene okuggya Ekkanisa ya Kristo ku mulamwa nga tagoberera nnono na njigiriza zaayo ssaako okusuula ennono z’Obufumbo nga ze zimu ku nsonga lwaki Ekkanisa ya Uganda yasalawo okwekutula ku y’e Bungereza.