Olubiri lwa Kabaka e Mmengo luwangudde engule y'abalambuzi mu nsi yonna

Olubiri  lwa Kabaka e Mmengo lwongedde okunyumira abalambuzi olw’ebintu ebinyuvu ebirulimu buli muntu anyumirwa okulaba.

Olubiri lwa Kabaka e Mmengo luwangudde engule y'abalambuzi mu nsi yonna
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Mmengo #Kabaka #Lubiri #Ngule

Olubiri  lwa Kabaka e Mmengo lwongedde okunyumira abalambuzi olw’ebintu ebinyuvu ebirulimu buli muntu anyumirwa okulaba.

Abalambuzi bano balutadde mu kifo kya 10 mu mpaka za TripAdvisor Travellers'  Choice Award z’omu Amerika ezirondoola ebifo ebirambulwa.

Satifikeeti Y'obulambuzi.

Satifikeeti Y'obulambuzi.

Empaka zino zaawanguza olubiri luno engule ng’ekimu ku bifo 10 ebisinga okulambulwa ku lukalu lwa Afrika ate mu Uganda ne luteekebwa mu bifo ebina ebisooka.

“Njozaayoza olubiri lwa Kabaka e Mmengo olw’okutuuka ku buwanguzi buno okunokolwayo abalambuzi mu mpaka zino,” Kristen Dalton nga ye Pulezidenti w’empaka zino bwe yayogedde gye buvuddeko.

Yayongeddeko nti “ Okuteekebwa mu bifo ebiri ku mutendera ogwa waggulu mu bizinensi eno, buwanguzi bunene era kiraga nti olina omulimu gw'okoze ogugasse ku balambuzi entoko abazze balondoola ekifo ku mitendera gyonna okuli n’omutimbagano. Tusuubira obuwanguzi buno okugenda mu maaso okubasindika okukola ebikulu okuyita mu 2025.”

Omukungu Najib Ng'alaga Engule Gye Yawangudde.

Omukungu Najib Ng'alaga Engule Gye Yawangudde.

Akulira emirimu mu kitongole ky’ebyobulambuzi mu Buganda Heritage & Tourism Board, Najib Nsubuga yategeezezza ng’engule eno bw'ebawadde amaanyi okwongera okuweereza abalambuzi abajja mu kifo kino ate n’okwongera ku buwereeza bwebabadde babawa.

“ Obuwanguzi buno bukulu nnyo gye tuli naddala ku kaweefube gwe tuliko ow’okutumbula eby’obulambuzi mu Buganda. Bujjidde mu kiseera ng’Obuganda bujaguza amatikkira ga Kabaka. Kirabo eri eby’obulambuzi bya Uganda n’okussa ekitiibwa mu by’obulambuzi obusimbye ku nnono n’obuwangwa,” Nsubuga bwe yagambye.

Ebimu ku by’obulambuzi ebiri mu Lubiri e Mmengo kuliko enju Twekobe, Empuku eyali Pulezidenti wa Uganda, Idi Amin mwe yasibiranga abantu, okuyigiriza abalambuzi enkola y’olubugo, okuwata n’ensiba y’empombo byonna biragibwa omulambuzi.