Mukiseera kino ng’Abagoberezi ba Kristo beetegekera Amazaalibwa ge, Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda, Dr. Stephen Samuel Kaziimba Mugalu asabye bannabvabufuzi, abakulembeze b’abantu, ab’ebitongole by’okwerinda ne Bannauganda bonna, okukuuma emirembe n’obutebenkevu.
Avumiridde effujjo, n’ebilolwa eby’obukambwe ebyeyolekedde mu kampeyini z’eby’obufuzi ezigenda mu maaso, n’asaba Bannauganda okwagalana, okugumiikiriziganya, okuwuliziganya, n’okussanganamu ekitiibwa kuba Uganda ya Bannauganda bonna, ate Bannauganda bonna baaluganda kubanga bonna baana ba Katonda.

Kkwaya ng'efuuwa omulele
Y’ategeezezza nti omwana Yesu agenda okuzaalibwa ye Kabaka w’emirembe, n’asaba abakkiriza okumwaniriza, n’okumukkiriza afuge obulamu bwabwe, abawe emirembe, ate emirembe egyo nabo bagituuse kubalala.
“Ng’eggwanga tuli mukwetegekera kulonda okugenda okubaawo omwezi ogujja, ng’omwaka gutandika. Nsaba Banauganda bannange mwenna okukuuma emirembe. Tuvumirira ebikolwa eby’obukambwe n;obukaawu byetulaba ngabituusibwa ku Bannauganda abatalina musango, era abatakutte mmundu. Twagala okulonda kube kwamirembe, era nga kwamazima. Abaserikale baffe mbasaba mukole bulungi omulimo ogw’okukuuma Bannauganda n’ebintu byabwe mugukole bulungi, awatali kwekubiira. Musse ekitiibwa mu bulamu bwa Bannauganda, n’ekitiibwa kyabwe eky’obuntu.
Muleme kulinnyirira ddembe lyabwe ery’obuntu. Tewali nsonga lwaki okuba munno, oba okumutta. Ffenna tuli Bannauganda. Eggwanga lyaffe abalala mwebabadde banoonyeza obubudamo. Kati ate bwerinaatabanguka ffe tunaalagawa?” Kaziimba bweyagambye.

Kazimba Mugalu nga bamuwa ebirabo
Y’abade awa obubaka bwe obw’Amazaalibwa, mu lubiri lwe e Namirembe, ku Lwokuna nga December 18 (2025).
Ssabalabirizi Kaziimba y’ategezezza nti Omwana Yesu agenda okuzaalibwa ye Kabaka w’Emirembe, era nga eno y’ensonga lwaki abakkiriza kibakakatako okwetuusaako emirembe n’okugiwa abalala.
“Ngatujaguza amazaalibwa ga Kristo, tusaba ekitangaala kye kyakire mumitima gyaffe, era kijikyuse, tube nga tuyisa nga ye. Tusaba abantu bonna munsi batuukibweko obusaasizi,” Kaziimba bweyategeezezza.
Ssabalabirizi Kaziimba oluvannyuma y’asabye Bannauganda bafube okukuuma obutonde bw’ensi, eggwanga liwone akatyabaga k’amataba n’okukyukakyuka kw’embeera y’obudde.
Y’ayagalizza President Museveni n’aba famire ye; abagoberezi ba Kristu omuli Abakatoliki, Abakuristaayo, Abasodokisi n’Abapentekooti Amazaalibwa amalungi, n’omwaka omujja ogw’essanyu.