Amawulire

SIPIIKA  w'olukiiko lw'e Ggombolola e Kaliro, attiddwa mu bukambwe

SIPIIKA  w'olukiiko lw'e Ggombolola e Kaliro, attiddwa mu bukambwe, abatemu bwe babadde bamunyagako pikipiki kw'abadde atambulira.

SIPIIKA  w'olukiiko lw'e Ggombolola e Kaliro, attiddwa mu bukambwe
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

SIPIIKA  w'olukiiko lw'e Ggombolola e Kaliro, attiddwa mu bukambwe, abatemu bwe babadde bamunyagako pikipiki kw'abadde atambulira.

Goeffrey Mugoonyi 47 , ng'abadde sipiika w'olukiiko lw'e Ggombolola y'e Bumaana mu disitulikiti y'e Kaliro, y'attiddwa mu bukambwe, oluvannyuma abatemu ne bakuuliita ne pikipiki ye.

Kigambibwa nti ono ne banne , basoose mu lukiiko era n'atwalako abamu ku beyabadde nabo, nti kyokka abatemu ne bamuzingiza bwe yabadde adda awaka ne bamutta.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North , Micheal Kasadha, ategeezezza nti batutte embwa awabadde ettemu, nti kyokka tebasobodde kubaako kye bazuula era nga mu kiseera kino, omuyiggo , gugenda mu maaso.

Ayongeddeko nti, baaliba nga beeyambisizza ekiso kye bamufumise mu feesi ne ku mutwe era ng'omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika okwongera okugwekebejja

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: