EKITONGOLE kya KCCA kisabye abantu obutakung’aanyizza kasasiro ku makubo wabula balinde mmotoka ezimutwala bamutikkeko.

Abantu nga bayonjo ebitundu byabwe
Bwe yabadde akulembeddemu enteekateeka y’okuyonja ebitundu mu Kampala akulira KCCA Hajjati Sharifa Buzeki yagambye nti abantu tebalia kukunganizza kasasro ku nguudo wabula blinde motoka ezimutwala bamutikekko atwalibwe nga kio kyagerereddwamu okutangira entuumu za kasasiro.

Hajjati Buzeki ng'alongoosa n'abatuuze mu Nkere zzooni e Kibuye eguglo.
Buzeki yagambye nti era abantu tebalina kumala gamansa kasasiro buli we basanze wabula bafune obudeeya bamuteekemu nga bamwawudde, okuli avunda n’atavunda.
Yayongeddeko nti bwe yabadde mu Nkere zzooni aliko ekitundu kye yasanzemu entuumu ya kasasasiro n’abagamba bamukungaanye bamutwale ku mmotoka kuba baabadde bamusudde okumpi n’omwala .