RDC wa Kasangati Frank Kyazze yewaanye nga emyezi omunaana gye yaakamala e Kasangati asobodde okukkakkanya ekigobaganya bantu ku ttaka kye yasanga kibuutikidde ofiisi eno.
"Nze gwe mulaba wano n'ajjanga n'emmere okuva ewaka naye nga ennema okulya, nga bwenzirayo ewaka ntuuka okwebakira mu ntebe anti nga bwentuula ng'otulo tuntwalirawo olw'obukoowu. Nze nga siwummula naye kati nsobola okukwata ne ku nsonga endala zonna ezigwa mu ofiisi yange okusinga nga bwe gwali. Ettaka tekikyali kizibu kyamaanyi e Kasangati" bw'atyo Kyazze bwe yategeezezza.
Rdc Kyazze Ow'okusatu Ku Ddyo Mu Mmisa Nga Yeebaza katonda.
Yagasseeko nti ekigobaganya bantu ku ttaka, olukujjukujju, okweyagaliza, obulyake bubadde bungi ku ttaka awatali kusosola n'agamba nti ensonga azitandiika okuva ofiisi lw'eggulwawo okutuusiza ddala akawungeezi kumpi kujula kusula mu ofiisi olw'abantu abaali bafunvubidde okugobaganya bannaabwe ku ttaka.
Kyazze yagambye nti mu kiseera kino alina obuwerero obulya ku ky'emisana n'okulaba ng'asisinkana abantu ab'enjawulo ku nsonga ez'enjawulo ezitali za ttaka.