ENTEEKATEEKA z'okuwandiisa abeegwanyiza ekifo ky'obwapulezidenti mu kulonda kw'omwaka ogujja ziri mu ggiya.
Emmotoka 10 ezigenda okuweebwa abanavuganya ku kifo ky'obwapulezidenti zimaze okutuusibwa ku kitebe
Weema omugenda okubeera okwewandiisa okutandika n'olunaku lw'enkya ku kitebe kya kakiiko k'ebyokulonda e Lubowa ku luguudo lw’e Ntebe ziwedde okuzimbibwa.
Mu kiseera kino abakozi bagenda mu maaso n'okuyooyoota ekifo kyonna awanaatuula abaagala okuvuganya n'abawagizi baabwe abanaabawerekerako. Eby'okwerinda binywezeddwa okwetooloola ekifo kyonna munda n'ebweru.
Omwogezi w’akakiiko k’eby'okulonda Julius Mucunguzi ategeezezza nti abantu babiri okuli Pulezidenti Yoweri Museveni owa NRM ne Nandala Mafabi owa FDC be baakakakasibwa.
Agambye nti abalala 36 abaakomyawo empapula okuli Robert Kyagulanyi Ssentamu owa NUP bamaze okubategeeza bwe bayimiridde.
Mucunguzi agambye nti okuwandiisa abaagala okuvuganya ku kifo kino kwa kutandika ssaawa 4:00 ez'oku makya kukomekkerezebwe ku ssaawa 10:00 ez’akawungeezi.
Wabula ono agamba nti bonna abaagala okuvuganya ku kifo kino balina okutuukiriza ebisaanyizo ebirambikiddwa mu mateeka okuli eky'okubeera bannayuganda, abalonzi,obuyigirize obutakka wansi wa S6,okusasula obukadde 20 ez'okwewandiisa, n'ebirala.
Ategeezezza nti akawungeezi ka leero ssentebe w’akakiiko k'ebyokulonda Simon Byabakama waakulambika ebinaagobererwa olunaku lw'enkya oluvannyuma lw'ensisinkana n'ebitongole by'okwerinda.