Pulezidenti atongozza okuzimba ofiisi z’Abataka

PULEZIDENTI Museveni atongozza omulimu gw’okuzimba ekizimbe galikwoleka, LWATTAMU House, okugenda okubeera ofiisi z’Abataka b’obusoloya mu Buganda wamu ne ofiisi ez’okupangisa ebika byabwe bifune ssente. 

Pulezidenti atongozza okuzimba ofiisi z’Abataka
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Pulezidenti Museveni #Kutongoza #Ofiisi #Bataka

PULEZIDENTI Museveni atongozza omulimu gw’okuzimba ekizimbe galikwoleka, LWATTAMU House, okugenda okubeera ofiisi z’Abataka b’obusoloya mu Buganda wamu ne ofiisi ez’okupangisa ebika byabwe bifune ssente. 

Ekizimbe kino ekijja okuba eky’emyaliiro omukaaga, kyakubeerako amaduuka g’ebyobusuubuzi ne ofiisi z’abakulu b’ebika, nga kisuubirwa kuzimbibwa mu bitundu by’e Bulange – Mengo ku ttaka Museveni ly’agenda okugulira Abataka ku ssente obuwumbi 9 n’obukadde 300. 

Ekifaananyi Ekisiige Ekiraga Ekizimbe Ky'abataka Bwe Kinaafaanana.

Ekifaananyi Ekisiige Ekiraga Ekizimbe Ky'abataka Bwe Kinaafaanana.

Omukolo gw’okutongoza ekizimbe kino, Museveni yagukoze ku Lwokutaano ku luguudo Kabakanjagala okumpi ne Bulange wabula obwakabaka bwa Buganda tebwakiikiriddwa.

Abataka bo baasiimye Pulezidenti Museveni olw’okubayambako mu pulojekiti yaabwe ey’okwekulaakulanya n’okukulaakulanya abazzukulu. 

Samson Nabbimba Nakigoye, akulira ekika ky’Ekinyomo, yagambye nti mu kiseera kino, kontulakita w’ekizimbe yakwasiddwa ettaka okutandika okuzimba Minisita omubeezi ow’ebyamawulire Joyce Nabbosa Ssebuggwaawo, yagambye nti buli Mutaka mu Buganda waakubeera ne ofiisi ey’omulembe nga mulimu ebikozesebwa ebinaamuyamba okukunga abazzukulu abasaasaanidde eggwanga lyonna.

Pulojekiti eno ng’ewedde, Ssebuggwaawo agamba nti ejja kuyambako mu kaweefube w’Obwakabaka ow’okuzza Buganda ku ntikko n’okugikuumirayo. 

Yalaze obukulu bw’Abataka mu Buganda, n’agamba nti be baali abasaale mu kuteesa ne gavumenti okulaba ng’Obwakabaka buddawo, era enteekateeka eno egenda kuyamba nnyo mu kuzzaawo enkolagana wakati w’Obwakabaka ne gavumenti gye yagambye nti ebadde egenda esereba olw’ebyobufuzi.