OMUSAJJA agambibwa okubba batule 20 okuva ku mmotoka 10 eza kampuni ya Mena Granite Ltd , poliisi emukutte.
Farouk Mubiru y'akwatiddwa ne batule 40 okuli ezo ezigambibwa nti zabbiddwa ku mmotoka kkumi ezitabula enkokoto e Nnyanama mu munisipaali ya Ssabagabo Makindye e Wakiso.
Ezra Bairu Ghebrengusi ow'eggwanga lya Eritrea, yaloopye omusango ku poliisi e Katwe, oluvannyuma lw'okunoonyereza, kwe kukwata Mubiru mu mmotoka UAL 499E eyabatuusizza ku batule zeyabadde akwese mu katale e Nakawa.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti baliko n'abalala be banoonya ku bunyazi buno ng'okubuuliriza kugenda mu maaso.