Abavubuka babanguddwa mu mpeereza ey'omulembe

GAVUMENTI eyawakati okuyita mu bitongole byayo ebirwanyisa enguzi n'okutumbula obuwereeza obulungi bibangudde abakulembeze b'abavubuka mu Buganda ku nnondoola y'obuwereeza bwa gavumenti mu bitundu byabwe.

Minisita w'abavubuka Sserwanga ng'ayogera
By Dickson Kulumba
Journalists @New Vision

GAVUMENTI eyawakati okuyita mu bitongole byayo ebirwanyisa enguzi n'okutumbula obuwereeza obulungi bibangudde abakulembeze b'abavubuka mu Buganda ku nnondoola y'obuwereeza bwa gavumenti mu bitundu byabwe.

Bweyabadde aggalawo Omusomo ogw'ennaku essatu, Omumyuka w'Omukubiriza w'Olukiiko lwa Buganda, Hajj Ahmed Lwasa yasomozezza abakulembeze bano okwetanira okubangulwa buli kiseera lwebajja okufuna embavu ezirondoola obuwereeza obulina okufunibwa ebitundu.

" Musomeseddwa ebintu nkumu era ebirungi ebinayamba okutumbula obuwereeza eri abantu ba Buganda..Tewali kibagaana kweyongerayo okusoma, Kijja kubayamba okutuukiriza bulungi obuvunanyizibwa," Hajj Lwasa bweyakubirizza abavubuka.

Omusomo guno gwatandika August 20-22,2025 nga gubadde gubumbujjira ku kitebe ky'ekitongole ekivunanyizibwa ku by'obulambuzi mu Buganda ekisangibwa e Butikkiro e Mmengo.

Gwaggulwawo Omumyuka wa Kalisoliso wa Gavumenti, Dr. Patricia Achan Okiria ng'ono yategeeza nga bwebali mu kaweefube w'okuyunga abavubuka mu lutalo lw'okulwanyisa enguzi n'okulwanirira obuwereeza obulungi olw'enkulakulana y'ebitundu.

Mu kwogera kwe, Minisita w'Abavubuka, Emizannyo n'Ebitone mu Buganda, Robert Sserwanga yeebazizza ebitongole bya gavumenti eyawakati okuli ekya Kalisoliso wa gavumenti, Ofiisi y'Omubalirizi Omukulu ow'ebitabo bya gavumenti, Ekitongole ekigula ebintu bya gavumenti, Bannamukago aba GIZ nga bakwatira wamu n'Omukago gwa Bulaaya mu Uganda saako ne Gavumenti ya Bugirimaani olw'okuwoma omutwe mu nteekateeka eno.

Ku mukolo guno, GIZ yakikkiriddwa  akulira okulondoola obuwereeza n'ensasanya ennungamu, Einar Fogh eyalaze essanyu olw'enkolagana etandikiddwa n'Obwakabaka bwa Buganda n'agamba nti baagala okulaba ng'egenda mu maaso, etuuke ku bikulu bingi.

Ku lw'abavubuka babanguddwa, Ssentebe w'abavubuka mu Buganda, Derrick Kavuma ategezezza nti guno Mukisa munene ogubawereddwa okwenyigira mu kaweefube w'okutumbula enkulakulana mu ggwanga lyaabwe era obukodyo bwonna obubawereddwa n'agamba nti bagenda kubusa mu nkola