Amawulire

Poliisi enywezezza basatu ku by'okubbisa ebijambiya e Nsangi

Abasajja basatu abagambibwa okuba nti baludde nga bali emabega w'okubbisa ebijambiya e Nsangi n'emiriraano, bakwatiddwa poliisi.

Poliisi enywezezza basatu ku by'okubbisa ebijambiya e Nsangi
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

Abasajja basatu abagambibwa okuba nti baludde nga bali emabega w'okubbisa ebijambiya e Nsangi n'emiriraano, bakwatiddwa poliisi.

Bano, kuliko Shaban Nuwagaba, Eddie Turinawe ne Sulaiman Kawaki bakwatiddwa ku bigambibwa nti baludde nga batigomya abatuuze b'e Kyengera, Nsangi, Buddo n'ebitundu ebiriraanyeewo mu kubabba n'okubatema.

Nuwagaba ne Turinawe bagguddwako misango gya kutta n'okubbisa eryanyi ate ye munnaabwe Kawakki n'avunaanibwa ogw'okugula ebibbe omuli amasimu era nga n'ezimu kigambibwa bamusanze nazo mu dduuka mu Kampala.

Kino kiddiridde ababbi abeebijambiya abaludde nga batema ne batta n'okulumya abatuuze e Nsangi n'okunyaga ebintu ebiwerako era poliisi n'ebitongole ebikuumaddembe babadde mu kufeffetta abazigu bano wakati mu bunkenke okuva mu batuuze.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango, agambye nti  kino kyakuyambako ku batuuze okufuna ku tulo.

Tags:
Amawulire
Bijambiya
Maanyi
Nsangi