Poliisi ekyabuuliriza ku kabenje omufiiridde mmeeya ku luguudo oluva e Iganga okudda e Tororo.

Ignatius Kagawa eyafudde
Afudde ye Kagawa Ignatius, mmeeya wa Bukoova Town Council mu disitulikiti y'e Luuka era ng'abadde atambulira ku pikipiki nnamba UG 3913R kyokka emmotoka Isuzu nnamba KBM 094Y ebadde eva e Jinja okudda e Tororo nga ne pikipiki egivaako emabega n'esiba omulundi gumu n'agitomera n'agwa olwo emmotoka endala Isuzu n'emulinnya.
Omulambo gutwaliddwa mu ggwanika ly'e ddwaliro e Iganga era emmotoka ne bagikwatira e Nakalama ne ddereeva ne bamuggalira.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kasadha, agambye nti okubuuliriza, kugenda mu maaso.