Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyamawulire, Amina Zawedde asambazze ebyogerwa nti gavumenti yalagidde yintaneenti eggyibweko nga twolekera okulonda wiiki ejja.

Zawedde ng'annyonnyola
Ng’asinziira mu lukung’aana lwa bannamawulire olubadde ku ssengejjero ly’amawulire erya Media Center mu Kampala enkya ya leero, Zawedde agambye nti tebanafuna kiragiro kyonna kya kugyako yintanenti mu ggwanga, era amawulire ago n’asaba Bannayuganda bagatwale nga ga bulimba.
Zawedde okwogera bino kiddiridde ekiwandiiko okufulumira ku mikutu emigattabantu ng’abakitambuza bagamba nti kyawandiikiddwa ekitongole ekirung’amya ebyempuliziganya ekya Uganda Communication Commission (UCC).
Yagambye nti kyabadde kirabula Bannayuganda nti gavumenti eragidde yintaneeti okugyibwako ku Lwokuna lwa wiiki eno nga January 8 ,2026, era abalina ssente mu bbanka ne ku mobile money baziggyeyo nga bukyali kubanga byonna bigenda kuggyibwako ku Lwokuna.

Nyombi Thembo ng'annyonnyola
Ekiwandiiko kino Zawedde agambye nti kikyamu, n’asaba Bannayuganda obutasaasaanya mawulire ge batakakasizza nti matuufu.
Ye akulira ekitongole kya UCC, Nyombi Thembo agambye nti tannafuna kiragiro kyonna kya kuggyako yintaneeti mu biseera by’okulonda, era bwe kinaaba kizze ajja kuba abuulira Bannayuganda mu butongole.
Wabula, alabudde emikutu gy’amawulire obutalangirira bivudde mu kulonda, okuggyako nga bimaze okukakasibwa akakiiko k’ebyokulonda, era olumala okubirangirira ng’ogattako nti bikakasiddwa akakiiko k’ebyokulonda okusobola obutabuzaabuza bantu.
Okuweereza amawulire agaguddewo nga bwe gagenda maaso butereevu, nga galimu okwekalakaasa, okuyisa ebivvulu mu nguudo, oba akanyoolagano akalimu effujjo, nakwo Nyombi agambye nti tekukkirizibwa, kubanga tewaba budde bwa kusengejja, ekiyinza okuviirako abantu okutabuka.
Akalulu ka 2026 kagenda kukubibwa nga January 15,2026, ku kifo kya Pulezidenti n’ababaka ba Palamenti.