POLIISI y'e Nakaseke ekutte abantu mukaaga bagiyambeko okubuuliriza ku nfa ya nnamukadde ku kyalo Namusaale mu ggombolola y'e Kapeeka mu Nakaseke.
Omulambo gwa Matayo Nyandwe Ssalongo 70, gwasangiddwa gupakiddwa mu kiveera nga gusuuliddwa ku nsiko.
Ssentebe w'eggombolola y'e Kapeeka, Moses Ssenfuma ategeezezza nti okutuuka okukwata abantu bano kyaddiridde eyabalabye ekiro nga bawalaawala ekintu bwe yagezezzaako okwetegereza ne bamukwata ne bamukuba mizibu ne yeefuula azirise ne bamuleka ne bagenda mu maaso na kutwala kitereke mu nsiko.
Abaakwatiddwa kigambibwa mulimu abaana b'omugenzi, eyabaazise pikipiki kwe baatwalidde omufu n'abalala nga bakuumirwa ku poliisi e Kapeeka ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
Kigambibwa nti ettemu lino lyekuusa ku ttaka lya mugenzi.