ABANTU babiri bakwatiddwa okuyambako mu kunoonyereza ku babbi abaasuuziddwa emmundu ebbiri mu zzooni ya Mirimu e Ndejje mu Makindye Ssabagabo munisipaali.
Kino kiddiridde ababbi babiri nga balina pisito n'ebijambiya , okulumba amaka g'omutuuze Alex Ssali ne banyaga ssente akakadde kamu n'ekitundu, amasimu ne balumya ne mukyala we.
Abatuuze baasobodde okufumbiikirizaako omu ku babbi ne bamukuba ne bamutta.
Okumpi n'awaabadde obunyazi buno, poliisi n'abatuuze, baasanzeewo emmotoka nnamba UBQ 726 T era mu kugyaza, ne basangamu emmundu bbiri.
Okuva olwo, poliisi yagenze mu maaso n'omuyiggo n'ekwata agambibwa okuba nannyini mmotoka eyo, n'omulala gw'agamba nti gwe yabadde agipangisizza.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Oweyesigyire, agambye nti omuyiggo gw'abalala abali mu kibinja ekyo, gugenda mu maaso.