ABANTU 11 abagambibwa okwenyigira mu kuteega abantu ku luguudo lwa Northern by pass, bakwatiddwa.
Ekimu ku bikwekweto, bikoleddwa e Bulindo, Nsasa ne Katuli mu munisipaali y'e Kira mu Wakiso era enjaga n'ebiragala ebirala ebiwerako, bizuuliddwa .
Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Recheal Kawala, agambye nti kiddiridde abatuuze , abasuubuzi n'abatambuze , okwekubira enduulu ku bulumbaganyi obubadde bubakolebwako.