Poliisi egumizza Bannayuganda ku kkampeyini z'ebyokulonda n'ebyobufuzi!

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba, agumizza Bannayuganda nga kkampeyini z'ebyobufuzi n'okulonda okuggya ,bwe bigenda okukolebwa mu mirembe kubanga beetegese bulungi.

Poliisi egumizza Bannayuganda ku kkampeyini z'ebyokulonda n'ebyobufuzi!
By Musasi Bukedde
Journalists @New Vision
#Amawulire #Poliisi #Kkampeyini #Bannayuganda

OMUDUUMIZI wa poliisi mu ggwanga, Abas Byakagaba, agumizza Bannayuganda nga kkampeyini z'ebyobufuzi n'okulonda okuggya ,bwe bigenda okukolebwa mu mirembe kubanga beetegese bulungi.

Annyonnyodde nti nga bali wamu n'ebitongole ebirala ebikuumaddembe, beetegese bulungi okukuuma Bannayuganda n'ebyabwe mu kiseera ky'okulonda era n'abasaba okukolaganira awamu.

Alabudde abantu okwewala bannabyabufuzi abeenoonyeza ebyabwe, nga babateeka mu bikolwa ebitabangula emirembe, n'agamba nti si baakukikkiriza.

Abakuutidde okukuuma obutebenkevu, okwewala okumenya amateeka era n'abasaba okulonda abantu be baagala mu mirembe.