Amawulire

POLIISI e Mityana ekyagenda mu maaso n'okuyigga abaana abawere  babiri ababbiddwa okuva ku bannyaabwe

POLIISI e Mityana ekyagenda mu maaso n'okuyigga abaana abawere  babiri ababbiddwa okuva ku bannyaabwe.

POLIISI e Mityana ekyagenda mu maaso n'okuyigga abaana abawere  babiri ababbiddwa okuva ku bannyaabwe
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Mityana, ekyagenda mu maaso n'okuyigga abaana abawere  babiri, ababbiddwa okuva ku bannyaabwe.

Omwana asooka ow'e nnaku ebbiri nga tannatuumwa na linnya, yabbiddwa okuva ku nnyina Edith  Ndiyomufaasa owo ku kyalo Serunyonyi mu Ggombolola y'e Kalangaalo e Mityana.

Nnyina w'omwana ono, yabadde asiibuddwa okuva mu ddwaaliro ekkulu e Mityana nti era aba ateekateeka okufuluma, omukazi eyeefuudde omuzirakisa n'amumubbako nga yefudde amusitulirako.

Omwana ow'okubiri, yabbiddwa ku lunaku lw'erumu ku kyalo Kitinkokola mu Ttamu e Mityana, omukyala Sarah Nantume , bwe yalese abaana be babiri mu nnyumba okugenda okukwata enseenene.

Kitegeezeddwa nti yagenze okudda, ng'omwana omu Blessing Nassuuna ow'emyaka 3  bamutuutte ,nga wasigaddewo ow'emyaka omukaaga Prossy Nakacwa.

Omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lamerk Kigozi, agambye nti, abaana bano bombi, tebannabazuula era n'asaba abo bonna abamanyi amayitire gaabwe, okuyambako poliisi okubanoonya.

Tags: