Amawulire

POLIISI e Kamuli , etandise okubuuliriza ku musuubuzi agudde mu wooteeri n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro.

By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

POLIISI e Kamuli , etandise okubuuliriza ku musuubuzi agudde mu wooteeri n'afa nga yakatuusibwa mu ddwaaliro.

Johnson Ntende Muga, ow'emyaka enkaaga mu omwenda, nga ye  director w'essomero lya Kamuli Progressive era ng'abadde mutuuze w'e Buyomba zooni  e Kamuli, y'agambibwa okugwa mu Dawson Hotel  mu kibuga Kamuli , we bamuggye n'afiira mu kalwaliro akamu.

Kigambibwa nti Omusuubuzi ono, yavuze emmotoka ye ekika kya PRADO nnamba UBB 249G nti bwe yatuuseyo , kwe kugwa wansi ne bamuyoolayoola, kyokka n'afiira mu ddwaaliro.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga North, Samson Lubega, ategeezezza nti omulambo, gutwaliddwa mu ggwanika ly'eddwaaliro e Jinja okwekebejjebwa, ng'okunoonyereza kukolebwa.

Tags: