Amawulire

Palamenti eyisizza etteeka eriwa abayimbi enkizo okufuna mu biyiiye byabwe

PALAMENTI  ekubyeko  abayimbi bw’ebadde eyisa etteeka lya  copyright and neighboring amendment bill 2025  eribawa  enkizo okufuna mu biyiiye byabwe.

Palamenti eyisizza etteeka eriwa abayimbi enkizo okufuna mu biyiiye byabwe
By: Teopista Nakamya, Journalists @New Vision

PALAMENTI  ekubyeko  abayimbi bw’ebadde eyisa etteeka lya  copyright and neighboring amendment bill 2025  eribawa  enkizo okufuna mu biyiiye byabwe.

Ebbago ly’etteeka lino liragira emikutu gy’amawulire n’abanaazannya ebiyiiye bya Bannabitone okubisasula ssinga babikozesa.

Willy Mukaabya ng'annyonnyola

Willy Mukaabya ng'annyonnyola

Buli munnakitone kimukakatako okwewandiisa n’ekitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa ebiyiiye ne bizinensi  (URBS) okumanyibwa n’okufuna mu biyiiye byabwe.

Omuwendo gwa ssente gwe bajja okufuna buli luyimba bwe lunaazannyibwa , palamenti etegeezezza nti zaakugerekebwa akulira URBS wamu ne minisita w’ebyamateeka n’essiga eddamuzi.

SheebaH Karungi N'abayimbi Abalala Nga Bafuluma Palamenti

SheebaH Karungi N'abayimbi Abalala Nga Bafuluma Palamenti

Oluvannyuma ng’ebbaggo ly’etteeka liyisiddwa, baafulumye bayimba oluyimba lwa paasita Wilson Bugembe olwa “Katonda y’abadde mu eno ensonga”

Baasiimye palamenti olw’okuwuliriza okusaba kwabwe ne bategeeza nti kati obwavu bandiba nga batandise okubufuuwa mu ngombe nti kubanga babadde tebamanyi bwe bayinza kufuna mu maanyi gaabwe.

Tags:
Palamenti
Tteeka
Bbago