Amawulire

Muloope abakungu ba gavumenti ababaguza emirimu - Pulezidenti Museveni

PULEZIDENTI Museveni asabye Bannayuganda okuloopa abakungu ba Gavumenti ababaguza emirimu. 

Muloope abakungu ba gavumenti ababaguza emirimu - Pulezidenti Museveni
By: Ponsiano Nsimbi, Journalists @New Vision

PULEZIDENTI Museveni asabye Bannayuganda okuloopa abakungu ba Gavumenti ababaguza emirimu. 

 

Bino yabyogeredde ku mukolo ogwategekeddwa abawagizi be okumukulisa okuddamu okuwangula akalulu k’Obwapulezidenti ogwatuumiddwa ‘‘Yoga yoga Jjajja’’ e Kololo ku Lwokutaano.

 

“Temukkiriza buli bwa nguzi, mpulira abantu abatunda emirimu gya Gavumenti. Bano mubaloope bakwatibwe, kubanga bavuganya bannaabwe abeesimbu.

 

Abakyalemedde mu muze guno bagenda kukwatibwa,’’ Museveni bwe yategeezezza. Yawadde bamusigansimbi essuubi ng’enzigi bwe zikyali enzigule gye bali era n'alabula nti, abali b’enguzi tagenda kubattira ku liiso.

 

“Bamusigansimbi bajja n’omusimbi gwabwe kyokka basoomoozebwa abali b’enguzi, kye sigenda kugumiikiriza,’’ Museveni bwe yalabudde.

 

Museveni eyawerekeddwaako mukyala we, Janet Museveni yakubirizza Bannayuganda okulondoola enteekateeka za Gavumenti ez’okweggya mu bwavu mu bitundu byabwe naddala enkola ya Parish Development Model (PDM).

 

Museveni yakikkaatirizza ng’enkulaakulana y’eggwanga bw'egenda okweyongera nga bayita mu kutondawo emirimu naddala mu bavubuka. N’agamba nti, mu kisanja kino, amaanyi agenda kugateeka ku kulwanyisa obwavu ng’ayita mu bulimi, obulunzi, amakolero ne tekinologiya.

 

Yanokoddeyo enkola ya Emyooga ne PDM by'agamba nti, ebiyambye Bannayuganda bangi okweggya mu bwavu n’okuva ku nkola ey’okulima emmere ey’okulya yokka nga kati obulimi bagufudde mulimu oguvaamu ejjamba.

Museveni yalabudde ababba eddagala mu malwaliro ga Gavumenti nti, bagenda kukangavvulwa era n’asuubuza okwongera amaanyi mu kukola enguudo.

 

Yatenderezza Katonda olw’emirundi gy’amuwanguzza okuva mu 1971, ne yeebaza Mukalazi olw’okuteekateeka omukolo guno n’okumuwenjeza akalulu.

 

Omukolo guno gwawomeddwaamu omutwe akulira akakiiko k’amaka ga Pulezidenti akavunaanyizibwa okutumbula ebintu ebikolebwa mu ggwanga aka ‘State House Local Content Unit,’ Aminah Mukalazi.

 

 

Abalala kwabaddeko omumyuka wa Pulezidenti, Maj. Jessica Alupo, Katikkiro wa Uganda Robinah Nabbanja, omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa baminisita, ababaka ba Palamenti bannaddiini, abakulembeze ab’ennono n’abawagizi ba NRM okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

 

Omukolo gwatandise n’okusaba okwakulembeddwa omusumba Robert Kayanja owa Miracle Centre Cathedral Lubaga.

Tags:
Museveni
Bakungu
Muloope
Mirimu
Kuloopa