PAASITA Aloysius Bujjingo ne Susan Makula beeganye okufumbiriganwa bwe babadde mu kkooti nga betaasa okusindikibwa mu kkomera.
Makula yegaanye Bujjingo nti tamwanjulangako mu bazadde be mu mukolo ogwa e Kawuku mu December wa 2021 ne Bugingo ne yeegana Makula nti tamuwasangako.

Teddy Naluswa ne balooya be ku kkooti
Bombi babadde mu kaguli ka kkooti ento Entebe nga bavunaanibwa emisango gy'okuyingira mu bufumbo obw'okubiri ng'ate Bugingo mugatte wa mpeta n'omukyala omukulu Teddy Naluswa Bujjingo.
Makula bamusomedde nti" Gwe Makula nga toli mufumbo wayingira mu bufumbo ne Bujjingo nga okimanyi bulungi nti mufumbo. Wano Makula yazzeemu nti ow'ekitiibwa kino si kituufu.

Bujjingo ne Makula mu maaso g'omulamuzi
Mu kkooti Teddy abaddemu nnyo era ebibadde bigenda mu maaso bakira abiraba.
Bombi okwegaana nti tebafumbiriganwa kyongera okuwa Teddy amaanyi kubanga yadde nga kimanyikiddwa mu lwatu nti bano baagalana, enkolagana yaabwe ekyali ya nkukutu.
Bombi olwegaanye ne basaba beeyimirirwe omulamuzi Stella Okwanga n'abata ku ssente ez'obuliwo obukadde busatu buli omu.

Kati oludda oluwaabi lugenda kutandika okuleeta abajulizi abalumiriza nga February 18 ng'abamu ku bajulizi abasuubirwa ye Teddy Naluswa.
Teddy okwawukana ne Bugingo yalumiriza Makula nti ye yaviirako obufumbo bwabwe okusasisika oluvannyuma lw'okuyingira mu mukwano ogwenkukutu ne Bugingo.