Owa West Buganda omuggya akulembeddemu okusaba kwe okusoose

OMULABIRIZI wa West Buganda omuggya, Gaster Nsereko avumiridde ekibbattaka ekisusse ensangi zino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Owa West Buganda omuggya akulembeddemu okusaba kwe okusoose
By Jane Nakaweesi
Journalists @New Vision
#Mulabirizi #West Buganda #Kusaba

OMULABIRIZI wa West Buganda omuggya, Gaster Nsereko avumiridde ekibbattaka ekisusse ensangi zino mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Bino abyogeredde ku kkanisa ya St. Stephen Kasambya e Lyantonde mu kukulembera okusaba kwe okusoose okuva lwe yatuuziddwa wiiki ewedde.

Omulabirizi Nsereko agambye nti abantu bangi bayagadde nnyo ebyenfuna n'okusinga ne bannaabwe nti ate tebakyatya na kuswala.

Wano w’asizinde n’asaba abakikola beekube mu mitima bakikomye.

Yasabye abantu okusimba emiti kwossa okwettanira enteekateeka zonna ez’abakulembeze eziba zireeteddwa singa ziba zinaabatwala mu maaso.

 Yagasseeko okusaba abantu obutamugeraageranya na bakulembeze balala nti bakwatire wamu basobole okutwala Obulabirizi bwa West Buganda mu maaso.