Lt Paddy Nahabwe abadde avunaanibwa wamu ne James Niwamanya nga bavunaanibwa okukuba Samson Nteza amasasi agaamutta oluvannyuma ne babba bbooda ye ng'akozesa eryanyi ly'emmundu.
Bano babadde bawerennemba n’emisango emisango ebiri okuli ogw’obutemu n’obwakkondo mu kkooti ya magye e Makindye.
Ssentebe wa kkooti, Brig Gen Freeman Mugabe bw’abadde asoma ensala ya kkooti agambye nti okusinziira ku bujulizi bw’oludda oluwaabi, ababiri bano beenyigira butereevu mu kuzza emisango gino wadde mu kwewozaako kwabwe beegana emisango.
Obujulizi kkooti kw’esinzidde okusingisa bano emisango kuliko obw’obuuma obulumika obwali bwateekebwa mu bodaboda gye babba obwalaga bbooda gye yaggyibwa okutuuka mu disitulikiti y’e Gulu gye baagitunda nga bamaze okutta Nteza.
Obujulizi obulala kuliko ebiwandiiko okuva mu kkampuni z’amasimu ezaalaga entambula z’abawawaabirwa mu kiseera we baddiza emisango ssaako ebbaluwa y’omukugu eyeekebejja emmundu ekika ky’amasasi, n’amasasi agaakubwa omugenzi eyakakasa nti byali bikwatagana bulungi.
Bano emisango egibasinze baagizza nga October 13, 2018 e Nkuzongere katale Ward mu disitulikiti y’e Nakaseke n’ekigendererwa ekikyamu era ekirowoozeddwako. Nga bakozesa emmundu batta Nteza ne bakuulita ne bodaboda ye nnamba UEF 930 J.
Bawolerezebwa Emmanuel Turyomwe ne Elizabeth Nyansingwa. Oludda oluwaabi kuliko Col Raphael Mugisha , Capt Ambrose Guma, Lt Gift Mubehamwe n’abalala.