Amawulire

Omuzadde eyagenze okugula ebyetaago by'abaana abazze ku ssomero bamusse ng'adda awaka!

Ettemu lino libadde Namagoma Cell B e Kyengera, abazigu bwe basse Samuel Byamukama ng'adda ewuwe mu kiro ekikeesezza leero.

Omuzadde eyagenze okugula ebyetaago by'abaana abazze ku ssomero bamusse ng'adda awaka!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

OMUSAJJA abadde ava okugula ebintu bya baana okubazza ku ssomero agudde mu batemu ne bamukuba ne bamutta

Ettemu lino libadde Namagoma Cell B e Kyengera, abazigu bwe basse Samuel Byamukama ng'adda ewuwe mu kiro ekikeesezza leero.

Okusinziira ku mukyala w'omugenzi, baakomye okuwulizaganya emisana era n'amutuma okukomawo n'ebitabo bya baana wamu n'ebintu ebirala nga beetegekera okudda ku masomero, nti kyokka enkeera baamuyise nga balabye omulambo gwa bba ku kkubo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala Luke Oweyesigyire, agambye nti okunoonyereza kukolebwa nti era bwe baatutte embwa eyasibidde ku Easy Bar awagambibwa okuba abaakikoze .

Ayongeddeko nti poliisi ekyagenda mu maaso n'okuyigga abazigu abasse omusuubuzi wa ttayiro e Waakulekaana Salaama,  Swabula Kalisa .

Tags:
Amawulire
Namagoma
Ttemu
Poliisi