Omuwendo gw'emmwanyi Uganda gw'etunda ku katale k'ensi yonna gweyongedde!

ABALIMI b’emmwaanyi bali mu ssente oluvannyuma lw’ekirime kino okwongera okufuna ekiralu ku katale k’ensi yonna.

Omuwendo gw'emmwanyi Uganda gw'etunda ku katale k'ensi yonna gweyongedde!
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Mmwanyi #Uganda #Katale #Mayiga #Katikkiro Mayiga #Buganda #Bulimi

Abalimi b’emmwaanyi bali mu ssente oluvannyuma lw’ekirime kino okwongera okufuna ekiralu ku katale k’ensi yonna.

Omwezi oguwedde, Uganda yatunze ensawo z’emmwaanyi 577,073 eza kkiro 60 buli emu ku katale k’ensi yonna nga zaavuddemu obukadde bwa ddoola 94.39.

Katikkiro Mayiga ( ku kkono) ng'annyonnyola ebikwata ku mmwanyi. Wakati ye Joachim Kazibwe nnanyinni nnimiro z'emmwanyi ezaalambuddwa e Gombe ate ku ddyo (mu ssaati enjeru) ye Hajji Amisi Kakomo,minisita w'ebyobulimi n'obwegassi mu Buganda

Katikkiro Mayiga ( ku kkono) ng'annyonnyola ebikwata ku mmwanyi. Wakati ye Joachim Kazibwe nnanyinni nnimiro z'emmwanyi ezaalambuddwa e Gombe ate ku ddyo (mu ssaati enjeru) ye Hajji Amisi Kakomo,minisita w'ebyobulimi n'obwegassi mu Buganda

Mu mwezi gwe gumu kiro y’emmwaanyi kibooko yagula 4,000/-  ate Kase ali ku 7,900/-.

Okusinziira ku lipoota y’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mmwanyi mu ggwanga (Uganda coffee Development Authority-UCDA) eyafulumiziddwa nga October 11,2023, obungi bw’emmwaanyi Uganda z’etunda wabweru, bweyongedde.

Mu 2022/2023 yatunda ensawo eza kkiro 60 buli emu eziwera 6,140,000 nga zaavaamu obukadde bwa ddoola 940.36 okuva ku nsawo 5,860,000 mu 2021/2022 ezaavaamu obukadde bwa doola 877.66.

Kino kitegeeza nti emmwaanyi zeeyongera ebitundu 5 ku 100 mu bungi n’ebitundu 7 ku 100 mu muwendo. Ebitundu 80 ku 100 eby’emmwaanyi zino ezaatwalibwa ebweru, zaatwalibwa kkampuni 10 ku ezo 52 eziri mu mulimu guno.

Ekikolo ky'emmwanyi mu nnimiro ya Kazibwe e Mwereerwe mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe mu Kyadondo.

Ekikolo ky'emmwanyi mu nnimiro ya Kazibwe e Mwereerwe mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe mu Kyadondo.

Mu ezo ezaatundibwa, ensawo 543,361 za Robusta nga zaavaamu obukadde bwa ddoola 88.09 ate ensawo 33,712 za Arabica (ezirimwa mu bitundu by’ensozi) nga zaavaamu obukadde bwa ddoola 6.29.

Waaliwo okulinnya kwa kwa bitundu 12.76 ku 100 mu bungi n’ebitundu 30.38 ku 100 mu muwendo bw’ogeraageranya n’omwezi gwe gumu, omwaka oguwedde.

Ugacof (U) Ltd, Olam Uganda Ltd, Ideal Quality Commodities Ltd, Louis Dreyfus Company (U) Ltd, Ibero (U) Ltd, Kyagalanyi Coffee Ltd, Kawacom (U)Ltd,Touton Uganda Ltd, Export Trading Company (U) Ltd ne Besmark Coffee Company Ltd ze zaasinga okutwala emmwaanyi wabweru.

Italy ye yasinga okugula emmwaanyi za Uganda n’eddirirwa Bugirimaani, Sudan, India ne Algeria. Amawanga ga Africa baaguze ensawo z’emmwaanyi 104,844 nga gaakulembeddwamu  Sudan, Morocco, Algeria, South Africa, Egypt ne Kenya.

Akatale k’emmwanyi ak’ensi yonna kasuubirwa okutuuka ku nsawo obukadde 174.3 mu 2023/2024 olw’amakungula okuva e Brazil,Vietnam agasuubirwa okulinnya.

 Katikkiro ng'atongoza kaweefube w'okumanyisa abantu ku migaso egiri mu kunywa kaawa ku Lwadda PS e Matugga.

Katikkiro ng'atongoza kaweefube w'okumanyisa abantu ku migaso egiri mu kunywa kaawa ku Lwadda PS e Matugga.

Uganda esuubirwa okutunda ensawo z’emmwanyi  500,000 mu mwezi guno ogwekkumi. Amakungula amangi gasuubirwa mu bitundu by’e Masaka n’obukiikaddyo n’obuvanjuba bwa Uganda ebisuubirwa okutandika okukungula.

Bino we byajjidde nga Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga atongoza kaweefube w'okukunga abantu okunywa kaawa okuva mu mmwanyi olw’emigaso enkumu egiri mu kumunywa.

Kaweefube ono yamutongoza nga October 10, 2023 ku kisaawe e Lwadda mu tawuni y’e Matugga mu ggombolola y’e Ssaabawaali Gombe mu Kyadondo.

Yategeeza nti agendereddwamu okukunga abantu okunywa kaawa okulaba ng'abalimi beeyongera okufuna ensimbi mu mmwanyi ze balima.

“Abantu ba Uganda tetusaana kukudaalirwa olw’okunywa amajaani. Bwe twali tukula nga bw’oyogera ekintu ekitavuddeeyo bulungi ng’oli agamba ago oyogera majaani meereere. Kiki ekibanywesa amajaani ameereere nga mwe mulima emmwanyi omuva kaawa? ” Mayiga bwe yakunze  abantu.

Mayiga era yabuulidde abantu emigaso 10 egiva mu kunywa kaawa ekimufuula ow'omugaso eri omuntu.

“Okunywa kaawa kulimu emigaso mingi ate si biboozi wabula twesigamye ku ssaayansi;- ayongera obungi bwa maanyi, akendeeza ku bulabe bw’okufuna ssukaali, ayamba ku bwongo n’omutwe omulamu, ayambako okukendeeza omugejjo n’okugwewala, akendeeza obulabe obw’okwennyamira n’okweraliikirira,” Mayiga bwe yayongeddeko.

Emigaso emirala egiri mu kunywa kaawa kuliko ; atangira okufuna obuzibu ku kibumba, ayamba ku mutima okuba omulamu, ayongeza obuwangaazi, atumbula obusobozi bw’omuzannyi ate era ayamba omuntu okubeera omusanyufu buli kadde.