PULEZIDENTI Museveni akyamudde abantu be Mityana mu kulambula enkola ya Parish Development Model ne pulojekiti za Gavumenti endala bwabayiyeemu omusimbi oguli mu buwumbi.
Okulambula kwa Pulezidenti yakutandikidde mu kigo kya St. Joseph e Busunju gye yalambulidde emirimu gy’Abaseserodooti. Faaza Emmanuel Kiyemba bwanamukulu
w’ekigo yamulambuzza ebintu bye bakola ng’emmwanyi eziri yiika munaana, okulunda ente z’olulyo n’embizzi.
Fr. Kiyemba yategeezezza Pulezidenti nti bwe yasindikibwa e Busunju myaka ena emabega yakizuula nga baali tebalina mirimu givaamu simbi. Yasalawo okukozesa ettaka ly’ekifo kwalimira n’okulunda era n’abyagazisa n’abakristu era kati balinawo enjawulo.
Pulezidenti yasanyukidde emirimu egikolebwa mu kifo kinoera n’abagabira ttulakita erima ey’omulembe kibayambe okwongera ku mutindo.
Omulimu gw’okuzimba Klezia ey’omulembe yagambye nti agenda kuguteekako akawumbi kamu n’obukadde 500. Essomero lya siniya erya St. Francis nalyo yaligabidde bbaasi ey’omulembe esobole okutambuza abayizi ate ne Faaza
Kiyemba ng’omuntu n’amuwa obukadde 100 okumwebaza.
Abatuuze mu kitundu nabo yabalese basanyufu anti ssentebe wa LC 1 Rossete Nabyonga yamugulidde ppikippiki ya tuku- tuku n’abavubuka n’abawa obukadde butaano zeeyambisibwe okutereeza ekisaawe ky’omupiira. Mu kwogera, Pulezidenti yeebazizza faaza Kiyemba n’agamba nti okubuulira vanjiri yokka ng’omuntu
talina ssente zimubezaawo si kirungi. Yawadde eky’okulabirako kya Yesu eyakolanga ebyewuunyo naye yagendanga ku bajjiro ewa taatawe Yosefu n’akola.
Museveni yabadde awerekeddwaako Katikkiro wa Uganda, obinah Nabbanja, eyaloopedde Pulezidenti nti waliwo amasomero a bonnabasome abasaba ssente
n’ebyetaago ebisukkiridde abazadde. Ku nsonga eno, Museveni yagambye nti obuzibu obuliwo babadde n’ebyokukolako bingi bye bakwasaganya kyokka bwe binaggwa
agenda kulwanyisa ekizibu kino kikome.
Minisita w’ebyettaka, Judith Nabakooba yeebazizza Pulezidenti wokulambula abalimi kyokka n’amuloopera agamu ku makubo agakyali mu mbeera embi okuli; Busunju-Mityana-Gomba, Mityana- Bulera-Kalangaalo. Nabakooba yeetondedde Pulezidenti olw’okulonda obubi mu 2021 bwe baalonda abooludda oluvuganya n’amukakasa nti mu
2026 bagenda kulonda NRM ku buli kifo. Yamusabye akkirize Town Council eziri e Mityana ziweebwa ebipipa omuteekebwa kasasiro kuba tebalina we bamukung’anyiza era ne ssente za PDM n’asaba zongerweko okusukka obukadde 100 eziweebwa buli muluka. Abawagizi ba NRM baakung’anye mu bungi mu kibuga ky’e Busunju
kwaniriza Pulezidenti era yatuukidde mu mbuutu n’enduulu okuva mu bantu abaabadde babemberedde ku makubo. Omukolo gwetabyeko baminisita okwabadde Nnampala
wa Gavumenti, Hamson Obua, minisita omubeezi avunanyizibwa ku bamusigansimbi Evelyn Anite n’abalala.